Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Matthew 12 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 At that time Jesus went through the grainfields on the Sabbath. His disciples were hungry and began to pluck heads of grain and eat them. Awo mu kiseera ekyo Yesu n’ayita mu nnimiro y’emmere ey’empeke ku lunaku lwa Ssabbiiti. Abayigirizwa be ne balumwa enjala ne batandika okunoga ebirimba by’eŋŋaano ne babirya.
2 Seeing this, the Pharisees said to him, "Look—your disciples are doing what's unlawful on the Sabbath." Naye Abafalisaayo bwe baalaba kino ne bagamba Yesu nti, “Laba abayigirizwa bo bakola ekitakkirizibwa kukolebwa ku Ssabbiiti.”
3 He said to them, "Haven't you read what David did when he and his companions were hungry?" Naye Yesu n’abaddamu nti, “Temusomanga ku Dawudi kye yakola bwe yalumwa enjala ne be yali nabo?
4 how he entered the house of our Father and ate the Presence bread, unlawful for him and his companions, reserved only for priests? Yayingira mu nnyumba ya Katonda n’alya emigaati egy’okulaga, egikkirizibwa bakabona bokka okulya.
5 "Or haven't you read in the Law that on the Sabbath, priests in the temple break the Sabbath and are guiltless? Oba temusomanga mu mateeka nti bakabona ababeera mu luwalo lw’okuweereza mu Yeekaalu ne basobya ku Ssabbiiti tebaliiko musango?
6 I tell you, something greater than the temple is here. Naye mbagamba nti ekisinga Yeekaalu kiri wano.
7 If you knew what 'I want mercy, not sacrifice' means, you wouldn't have condemned the blameless. Naye singa mumanyi amakulu ga kino nti, ‘Njagala mubeerenga ba kisa okusinga okuwangayo ssaddaaka,’ temwandinenyezza bataliiko musango.
8 For the Son of Man is Lord of the Sabbath." Kubanga Omwana w’Omuntu ye Mukama wa Ssabbiiti.”
9 He went on from there and entered their synagogue. N’avaayo n’ajja mu kuŋŋaaniro lyabwe.
10 A man with a withered hand was there. They asked him, "Is it lawful to heal on the Sabbath?"—hoping to accuse him. Laba mwalimu omusajja eyalina omukono ogwakala. Ne babuuza Yesu obanga kikkirizibwa okuwonya ku Ssabbiiti. Baali basuubira nti anaddamu nti kituufu, balyoke bamuwawaabire.
11 He said to them, "Who among you with a sheep, if it falls in a pit on the Sabbath, won't grab and pull it out? Naye n’abaddamu nti, “Singa wabaddewo omuntu mu mmwe ng’alina endiga emu, n’egwa mu bunnya ku lunaku lwa Ssabbiiti, tagiggyamu?
12 How much more is a person worth than a sheep! So it's lawful to do good on the Sabbath." Kale, omuntu tasinga nnyo endiga omuwendo? Noolwekyo kikkirizibwa okukola ekirungi ku Ssabbiiti.”
13 Then he told him, "Stretch out your hand." He stretched it out, and it was restored, healthy like the other. Bw’atyo n’agamba omusajja nti, “Golola omukono gwo.” N’agugolola ne guwona, ne guba mulamu nga gunnaagwo!
14 But the Pharisees went out and plotted how to destroy him. Awo Abafalisaayo ne bafuluma ne bateesa nga bwe banaazikiriza Yesu.
15 Jesus, aware of this, withdrew from there. And many followed him, and he healed them all, Naye Yesu bwe yakimanya n’afuluma mu kuŋŋaaniro, abantu bangi nnyo ne bamugoberera, n’awonya abaali abalwadde bonna,
16 and he ordered them not to tell anyone about him. kyokka n’abakomako baleme okumwatuukiriza.
17 This was to fulfill what was spoken by the prophet Isaiah: Ebyayogerwa Nnabbi Isaaya biryoke bituukirire nti:
18 "Look, my servant—Jesus—whom I have chosen, my beloved in whom my soul delights. I will put my Spirit upon him, and he will proclaim justice to the nations. “Laba Omuweereza wange, ggwe neerondera, gwe njagala ennyo asanyusa emmeeme yange. Ndimuteekako Omwoyo wange era Alisalira amawanga gonna emisango.
19 He will not quarrel or shout, nor will anyone hear his voice in the streets. Taliyomba so talireekaana, era tewaliba n’omu aliwulira eddoboozi lye mu nguudo.
20 A bruised reed he will not break, and a smoldering wick he will not quench, until he brings justice to victory; Talimenya lumuli lunafu, wadde okuzikiriza olutambi lw’ettaala olunyooka.
21 and in his name the nations will put their hope." Era abamawanga baliba n’essuubi mu linnya lye.”
22 Then someone brought him a blind, mute demon-oppressed man, and he healed him so the man could speak and see. Awo Yesu ne bamuleetera omusajja eyaliko dayimooni, nga muzibe w’amaaso era nga tayogera. N’amuwonya, omusajja eyali tasobola kwogera n’asobola okwogera n’okulaba.
23 And all the crowds were amazed and said, "Can this be the Son of David?" Abantu bonna ne beewuunya ne boogera nti, “Ddala ddala ono si mwana wa Dawudi?”
24 But hearing this, the Pharisees said, "This man drives out demons only by Beelzebul, prince of demons." Naye Abafalisaayo bwe baakiwulira ne boogera nti, “Ono agoba baddayimooni ku bwa Beeruzebuli omukulu wa baddayimooni.”
25 Knowing their thoughts, he said to them, "Every kingdom divided against itself is ruined, and no city or house divided against itself will stand. Yesu bwe yategeera ebirowoozo byabwe n’abagamba nti, “Obwakabaka bwe bwawukanamu, oba ekibuga wadde amaka, tebiyinza kuyimirira.
26 And if Satan casts out Satan, he is divided against himself. How then will his kingdom stand? Ne Setaani bw’agoba Setaani munne ku muntu aba yeyawuddemu. Obwakabaka bwe bunaayimirira butya?
27 If I drive out demons by Beelzebul, by whom do your sons drive them out? So they will be your judges. Obanga Nze ngoba baddayimooni ku bwa Beeruzebuli omukulu wa baddayimooni, kale batabani bammwe babagoba ku bw’ani? Noolwekyo be bali basalira omusango.
28 But if I drive out demons by the Spirit of our Father, then the kingdom of our Father has reached you. Naye bwe mba ngoba baddayimooni n’amaanyi g’Omwoyo wa Katonda, kale Obwakabaka bwa Katonda buzze gye muli.
29 Or how can someone enter a strong man's house and carry off his goods, unless he first restrains the strong man? Then he can loot his house. “Oba omuntu ayinza atya okuyingira mu nnyumba y’omuntu ow’amaanyi, n’amunyagako ebintu bye okuggyako ng’asooka okusiba ow’amaanyi oyo? Olwo n’alyoka anyaga ebintu bye.
30 Whoever is not with me is against me, and whoever does not gather with me scatters. “Oyo atali nange, mulabe wange. N’oyo atakuŋŋaanyiza wamu nange asaasaanya.
31 So I tell you, every sin and blasphemy will be forgiven people, but blasphemy against the Spirit will not be forgiven. Noolwekyo mbategeereza ddala nti omuntu alisonyiyibwa buli kibi kyonna, na buli kuvvoola. Naye alivvoola Mwoyo Mutukuvu talisonyiyibwa.
32 Whoever speaks against the Son of Man will be forgiven; whoever speaks against the Holy Spirit won't be forgiven—neither in this age nor the age to come. Na buli muntu ayogera ekigambo ekibi ku Mwana w’Omuntu alisonyiyibwa, naye ayogera ekibi ku Mwoyo Omutukuvu talisonyiyibwa mu mulembe guno wadde ogugenda okujja.
33 Make the tree good and its fruit good, or the tree bad and its fruit bad, for a tree is known by its fruit. “Buli muti gutegeererwa ku bibala byagwo. Omuti bw’ogulabirira gubala ebibala ebirungi, naye bw’ogulagajjalira tegubala bibala.
34 You brood of vipers! How can you speak good things since you're evil? For the mouth speaks the heart's overflow. Mmwe abaana b’embalasaasa, mmwe abalina ebibi muyinza mutya okwogera ebirungi? Akamwa koogera ku biba bijjudde mu mutima.
35 A good person produces good from a good treasure; an evil person produces evil from an evil treasure. Omuntu omulungi afulumya ebirungi okuva mu tterekero lye eddungi, era n’omuntu omubi afulumya ebibi okuva mu tterekero lye ebbi.
36 I tell you, on judgment day people will answer for every careless word they speak, Era mbategeeza nti buli kigambo kyonna ekitasaana abantu kye boogera, kiribabuuzibwa ku lunaku olw’okusalirako emisango.
37 for by your words you will be justified, and by your words you will be condemned." Bwe bityo ebigambo byo bye birikuweesa obutuukirivu era ebigambo byo bye birikusalizisa omusango.”
38 Then some scribes and Pharisees said, "Teacher, we want a sign from you." Awo abamu ku bannyonnyozi b’amateeka n’Abafalisaayo ne bagamba Yesu nti, “Omuyigiriza twagala otulage akabonero.”
39 He answered, "This evil, adulterous generation demands a sign. None will be given it except the sign of the prophet Jonah. Naye n’abaddamu nti, “Omulembe omwonoonefu era omwenzi ogunoonya akabonero; temugenda kuweebwa kabonero okuggyako aka nnabbi Yona.
40 As Jonah was three days and three nights in the great fish's belly, so the Son of Man will be three days and three nights in the earth's heart. Kubanga Yona nga bwe yamala mu lubuto lw’ekyennyanja ekinene ennaku ssatu emisana n’ekiro, n’Omwana w’Omuntu bw’atyo bw’alimala mu ttaka ennaku ssatu emisana n’ekiro.
41 Ninevites will rise at the judgment with this generation and condemn it, for they repented at Jonah's preaching, and something greater than Jonah is here. Abantu b’e Nineeve baliyimirira ne basaliza abantu b’omulembe guno omusango okubasinga, kubanga beenenya bwe baawulira okubuulira kwa Yona. Naye laba asinga Yona ali wano.
42 The queen of the South will rise at the judgment with this generation and condemn it, for she came from earth's ends to hear Solomon's wisdom—and look, something greater than Solomon is here. Era ku lunaku olw’okusalirako omusango, kabaka omukazi ow’omu bukiikaddyo alisaliza abantu ab’omulembe guno omusango okubasinga, kubanga yava ku nkomerero y’ensi okujja okuwuliriza amagezi ga Sulemaani. Naye laba asinga Sulemaani ali wano.
43 When an unclean spirit leaves a person, it travels through dry places seeking rest, and finds none. “Omwoyo ogutali mulongoofu bwe guva mu muntu guyita mu malungu nga gunoonya aw’okuwumulirako, ne gutafuna wa kuwummulira.
44 Then it says, 'I will return to my house I left.' Coming, it finds it empty, swept, and put in order. Kyeguva gugamba nti, ‘Leka nzireyo mu nnyumba mwe nava.’ Bwe guddayo gusanga nkalu, nga eyereddwa era nga ntegeke.
45 Then it goes and brings along seven other spirits more evil than itself; they enter and settle there, and that person ends up worse off than before. So it will be with this evil generation." Kyeguva gugenda ne guleeta emyoyo emirala musanvu egigusingako obwonoonefu, ne giyingira mu nnyumba omwo ne gibeera omwo. Olwo omuntu oyo n’abeera bubi nnyo okusinga bwe yali okusooka. Bwe kityo bwe kiriba n’omulembe guno omwonoonefu.”
46 While he was still speaking to the crowds, his mother and brothers stood outside, wanting to speak with him. Yesu bwe yali akyayogera n’ekibiina, nnyina ne baganda be ne batuuka ne bayimirira ebweru nga baagala okwogera naye.
47 Someone told him, "Look, your mother and your brothers are standing outside, wanting to speak to you." Omuntu omu n’amutegeeza nti, “Nnyoko ne baganda bo, bali wabweru baagala kwogera nawe.”
48 He answered the one who told him, "Who is my mother, and who are my brothers?" Yesu n’amuddamu nti, “Mmange ye ani era ne baganda bange be baani?”
49 And stretching out his hand toward his disciples, he said, "Here are my mother and my brothers! N’agolola omukono gwe eri abayigirizwa be n’agamba nti, “Mulabe mmange ne baganda bange!
50 For whoever does the will of my Father in heaven is my brother and sister and mother." Kubanga buli akola ebyo Kitange ali mu ggulu by’ayagala oyo ye muganda wange, ye mwannyinaze era ye mmange.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]