Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Leviticus 4 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Our Father spoke to Moses, saying: Awo Mukama n’ayogera ne Musa n’amugamba nti,
2 "Tell the Israelites: If a person sins unintentionally against any of our Father's commands, doing what must not be done, and breaks one of them, “Tegeeza abaana ba Isirayiri nti: ‘Bino bye biragiro eri buli muntu anaasobyanga ku mateeka ga Mukama nga tagenderedde, n’akola ekintu kyonna Mukama kye yalagira obutakikolanga.
3 if the anointed priest sins, bringing guilt on the people, he must bring our Father a young bull without defect as a sin offering for the sin he committed. “ ‘Singa Kabona eyafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni ayonoona, bw’atyo abantu n’abaleetako omusango olw’ekibi ky’anaabanga akoze, anaaleeteranga Mukama ente ennume entoototo etaliiko kamogo, nga kye kiweebwayo olw’ekibi.
4 He is to bring the bull to the tent of meeting's entrance before our Father, lay his hand on its head, and slaughter it before our Father. Sseddume eyo anaagireetanga ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, mu maaso ga Mukama; anaagikwatanga omutwe gwayo n’agittira awo mu maaso ga Mukama.
5 The anointed priest takes some of the bull's blood and brings it into the tent of meeting. Awo kabona eyafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni anaatoolangako ku musaayi gwa sseddume eyo n’aguleeta mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu.
6 He is to dip his finger in the blood, sprinkling it seven times before our Father in front of the sanctuary veil. Anannyikanga olugalo lwe mu musaayi ogwo n’agumansirako emirundi musanvu awo eggigi ery’awatukuvu we litunudde mu maaso ga Mukama.
7 The priest is to put some of the blood on the horns of the altar of fragrant incense before our Father, which is in the tent of meeting, and pour all the rest of the bull's blood at the base of the burnt-offering altar at the entrance of the tent of meeting. Awo kabona anaddiranga ku musaayi, n’agusiiga ku mayembe ag’oku kyoto okwoterezebwa obubaane obw’akawoowo, ekiri mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu mu maaso ga Mukama. Omusaayi gwa sseddume ogunaasigalangawo gwonna, anaaguyiwanga ku ntobo y’ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa ekiri ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu.
8 He is to remove all the fat of the sin offering bull: the fat covering the entrails, and all the fat on the entrails. Amasavu gonna aganaabanga mu sseddume ey’ekiweebwayo olw’ekibi, anaagaggyangako: amasavu agabikka ebyenda, n’amasavu gonna agaliraanye ebyenda,
9 The two kidneys, the fat on them near the loins, and the liver's lobe—he removes with the kidneys, n’ensigo zombi n’amasavu agazirimu okuliraana ekiwato, n’ekibikka ku kibumba ng’abiggyirako wamu n’ensigo,
10 as removed from the ox of the peace offering; the priest is to burn them on the altar of burnt offering. (nga bwe biggyibwa ku nte ey’ekiweebwayo olw’emirembe), bw’atyo kabona anaabyokeranga ku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa.
11 But the bull's hide, all its flesh, head, legs, intestines, and dung. Naye eddiba lya sseddume eyo n’ennyama yaayo yonna, n’omutwe gwayo, n’amagulu gaayo, n’eby’omu nda byayo nga n’ebyenda kwebiri, awamu n’obusa bwayo,
12 He must carry all the rest of the bull outside the camp to a clean place where ashes are dumped, and burn it on a wood fire; it must be burned where ashes are dumped. ye sseddume yonna, anaagitwalanga wabweru w’olusiisira mu kifo ekiyonjo awayiyibwa evvu ly’ekyoto, anaatindiranga enku n’akuma omuliro n’agyokeranga okwo.
13 "If Israel's whole congregation sins unintentionally, and the matter is hidden from the assembly's eyes, and they do one of the things our Father commanded not to be done, and become guilty. “ ‘Ekibiina kyonna eky’Abayisirayiri bwe kinaayonoonanga nga tekigenderedde, ne kikola ekimu ku ebyo Mukama bye yalagira mu mateeka ge obutabikolanga, ekibiina ne bwe kinaabanga tekitegedde nti kisobezza, banaabanga bazzizza omusango.
14 When the sin they committed becomes known, the assembly must offer a young bull as a sin offering and bring it before the tent of meeting. Ekibi ekikoleddwa bwe kinaategeerekekanga, ekibiina kinaaleetanga sseddume y’ente entoototo mu maaso ga Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga ky’ekiweebwayo olw’ekibi.
15 The elders of the community lay hands on the bull's head before our Father; then it is slaughtered before our Father. Abakulembeze b’ekibiina banassanga emikono gyabwe ku mutwe gwa sseddume eyo mu maaso ga Mukama, sseddume eyo n’ettirwa mu maaso ga Mukama.
16 Then the anointed priest is to bring some of the bull's blood into the tent of meeting. Awo kabona eyafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni anaatwalangako ku musaayi gwa sseddume eyo n’aguleeta mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu.
17 He is to dip his finger in the blood and sprinkle seven times before our Father, in front of the veil. Anannyikanga olugalo lwe mu musaayi ogwo n’agumansira emirundi musanvu awo eggigi ly’awatukuvu we litunudde mu maaso ga Mukama.
18 He is to put some of the blood on the altar's horns before our Father in the tent of meeting, then pour all the rest of it at the base of the altar of burnt offering, at the tent of meeting's entrance. Anaddiranga ku musaayi n’agusiiga ku mayembe ag’oku kyoto ekiri mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu mu maaso ga Mukama. Omusaayi ogunaasigalangawo gwonna anaagufukanga ku ntobo y’ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa ekiri ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu.
19 He is to remove all its fat and burn it on the altar. Anaggyangamu amasavu gaayo gonna n’agookera ku kyoto,
20 He is to do the same with this bull as with the sin offering's bull. So the priest will atone for them, and they'll be forgiven. n’akola ku sseddume eno nga bwe yakola ku sseddume ey’ekiweebwayo olw’ekibi. Bw’atyo kabona anaatangiririranga abantu bonna mu kibiina, era ne basonyiyibwa.
21 He is to carry the bull outside the camp and burn it as he burned the first bull; it is the assembly's sin offering. Anaafulumyanga sseddume eno ebweru w’olusiisira n’agyokya nga bwe yayokya sseddume eri eyasooka. Kino kye kiweebwayo olw’ekibi ku lw’ekibiina ky’abantu bonna.
22 "When a leader sins, unintentionally doing anything our Father commanded not to do, and becomes guilty, “ ‘Omufuzi bw’anaayonoonanga nga tagenderedde n’akola ekimu ku ebyo Mukama bye yalagira mu mateeka ge obutabikolanga, anaabanga azzizza omusango.
23 if he learns of the sin he committed, he must bring as his offering a male goat without defect. Ekibi ekyo ky’akoze bwe kinaamalanga okumutegeezebwa, anaaleetanga ekiweebwayo kye eky’embuzi ensajja etaliiko kamogo.
24 He is to lay his hand on the goat's head and slaughter it where the burnt offering is slaughtered before our Father—a sin offering. Anagikwatanga ku mutwe gwayo, n’agittira awo mu maaso ga Mukama we battira ebiweebwayo ebyokebwa. Ekyo nga kye kiweebwayo olw’ekibi.
25 The priest will take some sin-offering blood with his finger, and put it on the burnt-offering altar's horns, then pour the rest at its base. Awo kabona anaddiranga ku musaayi ogw’ekiweebwayo olw’ekibi, n’olugalo lwe, n’agusiiga ku mayembe ag’oku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa. Omusaayi ogunaabanga gusigaddewo gwonna anaaguyiwanga ku ntobo ey’ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa.
26 He is to burn all its fat on the altar, like the fat of the peace offering. The priest will atone for his sin, and he will be forgiven. Amasavu gaayo gonna anaagookeranga ku kyoto okwo, okufaanana ng’amasavu olw’ekiweebwayo olw’emirembe bwe ganaayokebwanga. Bw’atyo kabona anaatangiririranga omufuzi oyo olw’ekibi kye, n’asonyiyibwa.
27 "If anyone of the common people sins unintentionally, doing any one of the things our Father commanded not to do, and incurs guilt, “ ‘Omuntu yenna owabulijjo bw’anaayonoonanga nga tagenderedde, n’akola ekimu ku ebyo Mukama bye yalagira mu mateeka ge obutabikolanga, anaabanga azzizza omusango.
28 when he becomes aware of his sin, he must bring a female goat without defect as his offering for the sin he committed. Ekibi ekyo ky’akoze bwe kinaamalanga okumutegeezebwa, anaaleetanga ekiweebwayo kye eky’embuzi enkazi etaliiko kamogo, olw’ekibi ekyo ky’akoze.
29 He is to lay his hand on the sin offering's head and slaughter it at the burnt offering's place. Anaakwatanga ku mutwe gw’ekiweebwayo ekyo olw’ekibi, n’akittira awo awattirwa ebiweebwayo ebyokebwa.
30 With his finger the priest puts some of its blood on the burnt-offering altar's horns, then pours all the rest at its base. Awo kabona anaddiranga ku musaayi gwakyo n’olugalo lwe n’agusiiga ku mayembe ag’oku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa. Omusaayi ogunaabanga gusigaddewo, gwonna anaaguyiwanga ku ntobo ey’ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa.
31 He is to remove all its fat, as fat is removed from the peace offering; the priest is to burn it on the altar—a pleasing aroma to our Father—and make atonement for him, and he will be forgiven. Amasavu gaakyo anaagaggyangamu nga ag’omu biweebwayo olw’emirembe bwe gaggyibwamu; kabona anaagookeranga ku kyoto ne gavaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama. Bw’atyo kabona anaatangiririranga omuntu oyo olw’ekibi kye, era omuntu oyo anaasonyiyibwanga.
32 "If he brings a lamb as his sin offering, he is to bring a female without defect. “ ‘Bw’anaabanga aleese endiga ento ng’ekiweebwayo kye olw’ekibi, anaaleetanga nkazi etaliiko kamogo.
33 He is to lay his hand on the sin offering's head and slaughter it as a sin offering where the burnt offering is slaughtered. Anaagikwatanga ku mutwe, n’agittira awo awattirwa ebiweebwayo ebyokebwa, nga kye kiweebwayo olw’ekibi.
34 With his finger the priest is to take some of the blood from the sin offering and apply it to the horns of the altar where burnt offerings are made, then pour out all the remaining blood at the altar's base. Awo kabona anaddiranga ku musaayi ogw’ekiweebwayo olw’ekibi, n’olugalo lwe, n’agusiiga ku mayembe ag’oku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa. Omusaayi ogunaabanga gusigaddewo, gwonna anaaguyiwanga ku ntobo ey’ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa.
35 He must remove all its fat, as the lamb's fat is removed from the peace offering; the priest will burn it on the altar atop the fire offerings to our Father. So the priest will atone for him for the sin he committed, and he will be forgiven." Amasavu gaayo anaagaggyangamu nga ag’omu biweebwayo olw’emirembe bwe gaggyibwamu, era kabona anaagookeranga ku kyoto ku biweebwayo eri Mukama ebyokeddwa mu muliro. Bw’atyo kabona anaatangiririranga omuntu oyo olw’ekibi kye, era omuntu oyo anaasonyiyibwanga.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]