Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Judges 4 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Once Ehud was dead, the Israelites again did evil in the eyes of our Father. Ekudi bwe yamala okufa Abayisirayiri ne bakola nate ebibi eri Mukama.
2 So our Father sold them into the hand of Jabin king of Canaan, who ruled in Hazor. His army commander was Sisera, who lived in Harosheth-hagoyim. Mukama n’abawaayo mu mikono gya Yabini Kabaka wa Kanani, eyabeeranga e Kazoli; omuduumizi w’eggye lye nga ye Sisera eyabeeranga e Kalosesi eky’abamawanga.
3 Then the Israelites cried out to our Father, for Sisera had 900 iron chariots and had harshly oppressed them for twenty years. Yabini yalina amagaali ag’ekyuma lwenda, era n’ajoogera Abayisirayiri emyaka amakumi abiri, kyebaava balaajaanira Mukama abayambe.
4 Now Deborah, a woman prophet, Lappidoth's wife, was judging Israel at that time. Awo Nnabbi Debola mukazi wa Leppidosi ye yali akulembera Abayisirayiri mu kiseera ekyo.
5 She would sit under the Palm of Deborah between Ramah and Bethel in Ephraim's hill country, and Israelites came up to her for judgment. Era bulijjo yatuulanga wansi w’olukindu olwayitibwanga olwa Debola wakati w’e Lama ne Beseri mu kitundu kya Efulayimu eky’ensozi: Abayisirayiri ne bajjanga gyali okubalamula.
6 She sent for Barak son of Abinoam from Kedesh in Naphtali and told him, "Hasn't our Father, the God of Israel, commanded you: Go, march to Mount Tabor and take with you 10,000 men from Naphtali and Zebulun. N’atumya Baraki mutabani wa Abinoamu ave mu Kedesi ekitundu kya Nafutaali, n’amugamba nti, “Mukama Katonda w’Abayisirayiri akulagidde nti, ‘Ggenda okuŋŋaanyize abasajja bo ku lusozi Taboli, obalondemu omutwalo gumu okuva mu kika ekya Nafutaali n’ekya Zebbulooni.
7 I will draw out Sisera, commander of Jabin's army, to meet you at the Kishon River with his chariots and troops, and hand him over to you." Ndisindika gy’oli ku mugga Kisoni, Sisera omuduumizi w’eggye lya Yabini, n’amagaali ge n’abalwanyi be era ndibawaayo mu mikono gyo.’ ”
8 Barak said to her, "If you go with me, I'll go; but if you won't go with me, I won't go." Baraki n’amuddamu nti, “Kale nnaagenda bw’onokkiriza ŋŋende naawe, naye bw’otokkirize nange siigende.”
9 "I will surely go with you," she said, "but you will get no glory on the road you take, for our Father will give Sisera into the hand of a woman." So Deborah rose and went with Barak to Kedesh. Debola n’amugamba nti, “Wewaawo nnaagenda naawe, naye ekitiibwa n’obuwanguzi tebiibe bibyo, kubanga Mukama aliwaayo Sisera awangulwe mu mikono gy’omukazi.” Baraki n’addayo ne Debola e Kedesi.
10 Barak called Zebulun and Naphtali to Kedesh; 10,000 men went up behind him, and Deborah went with him. Baraki n’ayita ab’ekika kya Zebbulooni n’ekya Nafutaali bakuŋŋaanire e Kedesi, abasajja omutwalo gumu ne bamugoberera awamu ne Debola.
11 Heber the Kenite, one of the descendants of Hobab, Moses' father-in-law, had separated from the Kenites and pitched his tent as far as the oak in Zaanannim, near Kedesh. Keberi Omukeeni yazimba eweema ye okumpi n’omuti omwera e Zaanannimu ekiri okumpi ne Kedesi oluvannyuma lw’okwawukana ne Bakeeni banne, bazzukulu ba Kobabu mukoddomi wa Musa.
12 When they told Sisera that Barak son of Abinoam had gone up to Mount Tabor, Awo Sisera bwe yamanya nga Baraki mutabani wa Abinoamu atuuse ku Lusozi Taboli,
13 Sisera summoned all his chariots—900 iron chariots—and all his troops, from Harosheth-hagoyim to the Kishon River. n’akuŋŋaanya amagaali ge gonna lwenda ag’ekyuma, n’abalwanyi be bonna okuva ku Kalosesi eky’abamawanga okutuuka ku mugga Kisoni.
14 Deborah said to Barak, "Up! Today our Father hands Sisera over to you. Has our Father not gone out ahead of you?" So Barak charged down Mount Tabor with 10,000 men behind him. Debola n’agamba Baraki nti, “Mukama si y’akukulembedde! Noolwekyo situkiramu kubanga olwa leero Mukama awaddeyo Sisera mu mikono gyo.” Awo Baraki n’ava ku lusozi Taboli n’abalwanyi be omutwalo gumu.
15 And our Father routed Sisera, all his chariots and all his army, by the sword before Barak; Sisera left his chariot and fled on foot. Mukama n’afufuggaza n’ekitala Sisera n’amagaali gonna n’eggye lye lyonna nga Baraki alaba; Sisera n’abuuka mu ggaali lye, n’adduka.
16 Barak chased the chariots and army to Harosheth-hagoyim, and Sisera's whole army fell by the sword; not one man survived. Baraki n’afubutula eggye lya Sisera n’amagaali gaalyo okutuuka e Keloseesi eky’amawanga; era n’abatta n’ekitala obutalekaawo yadde n’omu.
17 Meanwhile Sisera fled on foot to the tent of Jael, wife of Heber the Kenite, for Jabin king of Hazor and Heber's house were at peace. Naye Sisera n’addukira eri eweema ya Yayeeri mukazi w’Omukeeni Keberi: Kubanga waaliwo enkolagana wakati wa kabaka w’e Kazoli, Yabini n’ab’omu maka g’Omukeeni Keberi.
18 Jael went out to meet Sisera: "Turn in, my lord, turn in to me; don't be afraid." So he turned into her tent, and she covered him with a rug. Yayeeri n’afuluma okusisinkana Sisera; n’amugamba nti, “Mukama wange yingira mu weema yange, totya.” Sisera n’ayingira mu weema. Yayeeri n’amubikkako omunagiro.
19 He said, "Please give me a little water; I'm thirsty." She opened a skin of milk, gave him a drink, and covered him again. Namwegayirira nti, “Mpa ku tuzzi nnyweko kubanga ennyonta enzita.” N’asumulula eddiba omufukibwa amata n’amunywesa oluvannyuma n’amubikkako.
20 He said to her, "Stand at the tent entrance. If someone comes and asks, 'Is there a man here?' say, 'No.'" Sisera n’agamba Yayeeri nti, “Yimirira mu mulyango gwa weema eno, omuntu yenna bw’ajja n’akubuuza obanga muno mulimu omusajja yenna, omuddamu nti, ‘Temuli.’ ”
21 But Jael, Heber's wife, took a tent peg and hammer, crept up softly, and drove the peg through his temple into the ground while he lay fast asleep and exhausted. So he died. Awo Sisera bwe yali nga ali mu tulo tungi, Yayeeri mukazi wa Keberi n’addira enkondo ya weema n’ennyondo n’amusooberera n’amukomerera enkondo mu kyenyi, n’eyitamu n’ekwata n’ettaka n’afa.
22 Just then Barak came pursuing Sisera, and Jael went out to meet him. "Come," she said, "and I'll show you the man you're looking for." He went in with her, and there lay Sisera, dead, the tent peg through his temple. Awo Baraki bwe yali nga anoonya Sisera, Yayeeri n’afuluma okumusisinkana, n’amugamba nti, “Jjangu nkulage omusajja gw’onoonya. Baraki n’ayingira mu weema n’alaba omulambo ggwa Sisera nga gukubiddwamu enkondo mu kyenyi.”
23 On that day our Father subdued Jabin king of Canaan before the Israelites. Ku lunaku olwo Katonda n’awa Abayisirayiri obuwanguzi ku Yabini kabaka wa Kanani.
24 The hand of the Israelites pressed harder and harder on Jabin king of Canaan, until they destroyed him. Abayisirayiri ne beeyongera okufufuggaza Yabini kabaka wa Kanani okutuusa lwe bamuzikiririzza ddala.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]