Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Jeremiah 3 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 They say: If a man divorces his wife and she leaves him and marries another man, will he return to her again? Would not that land be utterly defiled? You have prostituted yourself with many lovers—and yet you would return to me? declares your Father. “Omusajja bw’agoba mukazi we, omukazi oyo n’agenda n’afuuka ow’omusajja omulala, omusajja we alimukomyawo nate? Ensi eba teyonoonekedde ddala nnyo? Naye obadde nga malaaya, ng’olina abasajja bangi; naye kaakano oyagala okukomawo gye ndi?” bw’ayogera Mukama.
2 Lift up your eyes to the barren heights and look: where have you not been violated? By the roadsides you sat waiting for lovers, like a nomad in the desert. You have defiled the land with your prostitution and your wickedness. Yimusa amaaso go olabe ku ntikko y’obusozi. Waliwo ekifo we bateebakira naawe? Ku mabbali g’ekkubo we watulanga n’olinda abasajja ng’oli nga Omuwalabu mu ddungu; n’olyoka oyonoona ensi n’obwenzi bwo n’ekibi kyo.
3 So the showers have been withheld, and the spring rains have not come. Yet you have the brazen look of a prostitute; you refuse to be ashamed. Noolwekyo enkuba kyevudde eziyizibwa, n’enkuba eya ttoggo n’etetonnya. Naye era otemya nga malaaya tokwatibwa nsonyi.
4 Have you not just now called out to me, 'My Father, you are the friend of my youth'? Tewakaŋŋamba nti Kitange ggwe mukwano gwange okuva mu buto bwange,
5 "Will he stay angry forever? Will he keep his wrath to the end?" This is how you talk, but you do all the evil you can. onoonyiigira ddala emirembe gyonna, olisunguwala emirembe gyonna? Bw’otyo bw’oyogera, naye okoze ebibi byonna ebisoboka.
6 Our Father said to me in King Josiah's days: "Have you seen what unfaithful Israel did? She went up every high hill, under every spreading tree, and prostituted herself there. Mu nnaku z’obufuzi bwa kabaka Yosiya Mukama yayogera nange n’aŋŋamba nti, “Olabye Isirayiri etali neesigwa ky’ekoze? Agenze ku buli kasozi na buli wansi w’omuti oguyimiridde ne yeeyisa ng’omukazi omwenzi.
7 I thought after she did all this she would return to me, but she didn't, and her treacherous sister Judah saw it. Nalowooza nti, Bw’alimala okukola bino byonna agenda kudda gye ndi naye teyadda, era muganda we atali mwesigwa Yuda n’akiraba.
8 She saw that for all unfaithful Israel's adulteries I sent her away and gave her a certificate of divorce. Yet her treacherous sister Judah had no fear; she too went and prostituted herself. Yalaba nti bwe namala okugoba Isirayiri eyanvaako, ne muwa n’ebbaluwa ey’okumugoba olw’obwenzi bwe. Naye ate ne ndaba muganda we atali mwesigwa Yuda nga taliimu kutya, naye n’agenda n’akola obwenzi.
9 Because her prostitution meant so little, she made the land unclean, committing adultery with stones and trees. Awo obwenzi bwe bwatuuka ne bumwanguyira nnyo n’ayenda n’asinza amayinja n’ebikonge.
10 Even so, her unfaithful sister Judah did not return to me wholeheartedly, but only in pretense, declares your Father." Naye wadde nga byonna bimaze okubaawo, muganda we Yuda atali mwesigwa, teyakomawo gye ndi na mutima gwe gwonna, naye yali alimbalimba,” bw’ayogera Mukama.
11 Our Father said to me: Unfaithful Israel proved more righteous than treacherous Judah. Mukama n’aŋŋamba nti, Isirayiri asudde obwesigwa, mutukuvu okusinga Yuda atali mwesigwa.
12 Go and proclaim toward the north: Return, unfaithful Israel, declares your Father. I will not look on you in anger, for I am merciful, declares your Father; I will not stay angry forever. Genda obuulire abantu b’omu bukiikakkono obubaka buno, obagambe nti, “ ‘Komawo ggwe Isirayiri, eyanvaako,’ bw’ayogera Mukama. ‘Siribatunuuliza busungu kubanga ndi waakisa,’ bw’ayogera Mukama; ‘Sirisiba busungu ku mwoyo emirembe gyonna.
13 Only acknowledge your guilt—that you rebelled against your Father, lavished your favors on strangers under every spreading tree, and did not obey my voice, declares your Father. Mukkirize bukkiriza ekibi kyammwe, mwajeemera Mukama Katonda wammwe, mwasinza bakatonda abalala, wansi wa buli muti oguyimiridde, era ne mutaŋŋondera,’ ” bw’ayogera Mukama.
14 Return, you faithless children, declares your Father, for I am your husband. I will take you—one from a city and two from a family—and bring you to Zion. “Mukomeewo mmwe abaana abanvaako,” bw’ayogera Mukama; “kubanga nze bbammwe, era ndibalondamu omu ku omu okuva mu buli kibuga, babiri babiri okuva mu buli kika mbaleete ku lusozi Sayuuni.
15 Then I will give you shepherds after my own heart, feeding you with knowledge and understanding. Era ndibawa abasumba abakola ng’omutima gwange bwe gwagala, abalibakulembera mu kumanya era ne mu kutegeera.
16 When you have multiplied and increased in the land, in those days, declares your Father, no one will say again, 'The ark of the covenant of our Father.' It will not come to mind, be remembered, or be missed, nor will another be made. Ennaku bwe zirituuka nga mwaze era nga muli bangi nnyo mu nsi,” bw’ayogera Mukama, “abantu baliba tebakyayogera ku Ssanduuko y’Endagaano. Baliba tebakyagirowooza nako, okugijjukira; oba okulumwa emitima olw’obutaba nayo wadde okukola endala.
17 "Then they will call Jerusalem the Throne of our Father, and all the nations will gather there to honor our Father's name. No longer will they follow their stubborn, evil hearts. Ebbanga lyonna Yerusaalemi kiriyitibwa Entebe ya Mukama ey’Obwakabaka, amawanga gonna mwe ganaakuŋŋaaniranga okumugulumiza Mukama mu Yerusaalemi era tebaliddayo kugoberera mitima gyabwe minyoomi.
18 In those days the house of Judah will join the house of Israel, and together they will come from the northern land to the land I gave your ancestors as an inheritance. Mu nnaku ezo ennyumba ya Yuda eryegatta ku nnyumba ya Isirayiri, era bombi awamu baliva mu nsi ey’omu bukiikakkono ne bajja mu nsi gye ndiwa bakitammwe okuba omugabo.
19 I myself said, 'How gladly would I set you among my children and give you a pleasant land, the most beautiful inheritance of any nation!' And I thought you would call me 'My Father' and never turn away from following me. “Nze kennyini nalowooza “nga nayagala okubayisanga nga batabani bange, era mbawe ensi eyeegombebwa, nga gwe mugabo ogusinga obulungi mu mawanga gonna. Nalowooza nti mulimpita ‘Kitammwe,’ ne mutanvaako ne mwongera okungoberera.
20 But like a wife unfaithful to her husband, so you have been unfaithful to me, house of Israel, declares your Father. Naye ng’omukazi atali mwesigwa eri bba bw’abeera, bwe mutyo bwe mutabadde beesigwa gye ndi, mmwe ennyumba ya Isirayiri,” bw’ayogera Mukama.
21 A voice is heard on the barren heights—the weeping and pleading of Israel's children—because they have perverted their way and forgotten their Father. Okukaaba kw’Abaana ba Isirayiri kuwuliddwa ku ntikko z’ensozi ezitaliiko kantu, nga bakaaba n’okwegayirira, kubanga baatambulira mu kukola ebibi, ne beerabira Mukama Katonda waabwe.
22 "Return, you faithless children; I will heal your faithlessness." "Here we are, we come to you, for you are our Father. “Mukomeewo mmwe abantu abatali beesigwa, nnaabawonya ne mbafuula abeesigwa.” Ne mugamba nti, “Weewaawo tujja kudda gy’oli, kubanga ggwe Mukama Katonda waffe.
23 Surely the uproar on the hills and mountains is a delusion; surely in our Father is the salvation of Israel. Ddala okusuubira obuyambi okuva mu nsozi gye twasinzizanga bakatonda abalala temuli kantu. Ddala mu Mukama Katonda waffe mwe muli obulokozi bwa Isirayiri.
24 From our youth that shameful thing has devoured the fruit of our ancestors' labor—their flocks and herds, their sons and daughters. Naye okuva mu buto bwaffe bakatonda abo abalala abatagasa balidde ne bamalawo ebibala bakitaffe bye baamalirako amaanyi gaabwe, embuzi zaabwe, n’ente zaabwe, batabani baabwe ne bawala baabwe.
25 Let us lie down in our shame, and let our disgrace cover us. For we have sinned against our Father—we and our ancestors—from our youth to this day, and we have not obeyed the voice of our Father." Leka tugalamire, ng’ensonyi zitutta, n’obuswavu bwaffe butuyitiridde kubanga twonoonye eri Mukama Katonda waffe, ffe ne bakadde baffe, okuva mu buto bwaffe n’okutuusa ku lunaku luno; kubanga tetugondedde ddoboozi lya Mukama Katonda waffe.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]