Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Genesis 48 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 After this, Joseph was told, "Look, your father is sick." So he took his two sons, Manasseh and Ephraim. Oluvannyuma Yusufu n’ategeezebwa nti, “Laba, kitaawo mulwadde.” Bw’atyo n’atwala batabani be Manase ne Efulayimu;
2 Jacob was told, "Look, your son Joseph has come to you." Israel mustered his strength and sat up on the bed. Yakobo n’ategeezebwa nti, “Mutabani wo azze okukulaba.” Awo Yakobo ne yeekakaba ku kitanda kye n’atuula.
3 Jacob told Joseph, "El Shaddai—our Father Almighty—appeared to me at Luz in the land of Canaan and blessed me. N’agamba Yusufu nti, “Katonda Ayinzabyonna yandabikira e Luzi mu nsi ya Kanani n’ampa omukisa.
4 He said to me, 'I will make you fruitful, multiply you, and make you into a group of peoples; I will give this land to your offspring after you as an everlasting possession.' N’aŋŋamba nti, ‘Laba, ndikwaza n’osukkirira ne nkufuula abantu abangi, era ensi eno ndigiwa ezzadde lyo okuba obutaka bwabwe ennaku zonna.’
5 Now, your two sons born to you in Egypt before I came to you here are mine. Ephraim and Manasseh will be mine, like Reuben and Simeon. “Kale kaakano batabani bo bombi abaakuzaalirwa mu Misiri nga sinnajja, bange; Efulayimu ne Manase baliba bange nga Lewubeeni ne Simyoni bwe bali.
6 But children you father after them are yours; they'll be called under their brothers' names in their inheritance. N’abo abaakuzaalirwa oluvannyuma lwabwe baliba babo, banaayitibwa amannya ga baganda baabwe mu mugabo gwabwe.
7 As for me, when I came from Paddan, Rachel died beside me in the land of Canaan, on the way, still some distance from Ephrath; I buried her there on the way to Ephrath" (that is, Bethlehem). Kubanga bwe najja ng’ava e Paddani, ne ndaba ennaku Laakeeri n’anfiirako mu kkubo mu nsi ya Kanani, nga nkyagenda Efulasi; ne mmuziika eyo mu kkubo erigenda Efulasi, ye Besirekemu.”
8 When Israel saw Joseph's sons, he said, "Who are these?" Isirayiri bwe yalaba batabani ba Yusufu n’abuuza nti, “Bano be baani?”
9 Joseph said to his father, "These are my sons, whom our Father gave me here." He said, "Please bring them to me, so I may bless them." Yusufu n’addamu kitaawe nti, “Be batabani bange, Katonda b’ampeeredde wano.” N’amugamba nti, “Nkusaba obansembereze mbasabire omukisa.”
10 Israel's eyes were dim with age—he couldn't see well. So Joseph brought them close to him, and he kissed and embraced them. Mu kiseera kino amaaso ga Isirayiri gaali gayimbadde olw’obukadde, nga takyasobola kulaba. Awo Yusufu n’abamusembereza, Yakobo n’abagwa mu kifuba n’abanywegera.
11 Israel told Joseph, "I never expected to see your face—now our Father has even let me see your offspring." Isirayiri n’agamba Yusufu nti, “Saasuubira kulaba maaso go; era laba Katonda ansobozesezza okulaba n’abaana bo.”
12 Then Joseph took them from between his father's knees and bowed with his face to the ground. Awo Yusufu n’abaggya ku maviivi ge n’avuunama wansi.
13 Joseph took both—Ephraim in his right hand, toward Israel's left, Manasseh in his left, toward Israel's right—and brought them near him. Yusufu n’abatwala bombi, Efulayimu ng’ali mu mukono gwe ogwa ddyo, okwolekera ogwa Isirayiri ogwa kkono, ne Manase ng’ali mu mukono gwe ogwa kkono okwolekera ogwa Isirayiri ogwa ddyo, n’abamusembereza.
14 Israel reached out his right hand and put it on Ephraim's head—the younger—then his left hand on Manasseh's head, crossing his hands—for Manasseh was the firstborn. Isirayiri n’agolola omukono gwe ogwa ddyo n’aguteeka ku mutwe gwa Efulayimu eyali omuto, n’omukono gwe ogwa kkono n’aguteeka ku mutwe gwa Manase, n’ayisiŋŋanya emikono gye, kubanga Manase ye yasooka okuzaalibwa.
15 Then he blessed Joseph and said, "Our Father, before whom my fathers Abraham and Isaac walked—our Father who has been my shepherd all my life long to this day, N’awa Yusufu omukisa, n’agamba nti, “Katonda wa jjajjange Ibulayimu ne kitange Isaaka gwe baatambulira mu maaso ge, Katonda oyo ankulembedde obulamu bwange bwonna okutuusa leero,
16 the Messenger who has redeemed me from all evil—bless the boys. May my name live on in them, and the names of my fathers Abraham and Isaac; and may they grow into a multitude in the midst of the earth." Malayika oyo eyannunula okuva mu bizibu byonna, owe omukisa abalenzi bano. Erinnya lyange lyeyongerenga okutuumibwa mu bo era n’erya Ibulayimu n’erya Isaaka. Era bafuuke ekibiina ekinene mu maaso g’ensi.”
17 Joseph saw his father's right hand on Ephraim's head; it upset him, so he grasped his father's hand to move it from Ephraim's head to Manasseh's head. Yusufu bwe yalaba nga kitaawe atadde omukono gwe ogwa ddyo ku Efulayimu n’atakyagala, n’akwata omukono gwa kitaawe okuguggya ku mutwe gwa Efulayimu aguzze ku mutwe gwa Manase.
18 Joseph said to his father, "No, my father, for this is the firstborn—put your right hand on his head." N’agamba kitaawe nti, “Kireme kuba kityo, kitange, kubanga ono ye mubereberye, teeka omukono ogwa ddyo ku mutwe gwe.”
19 But his father refused and said, "I know, my son, I know. He too will become a people, he too will be great. Yet his younger brother will be greater than him, and his descendants will become many nations." Naye kitaawe n’agaana n’agamba nti, “Mmanyi, mwana wange, mmanyi nti alifuuka eggwanga era aliba mukulu; kyokka muto we aliba mukulu okumusinga era alivaamu amawanga mangi.”
20 That day he blessed them, saying, "Israel will bless through you, saying, 'May our Father make you like Ephraim and like Manasseh.'" And he put Ephraim before Manasseh. Awo n’abasabira omukisa ku lunaku olwo ng’agamba nti, “Abaana ba Isirayiri basabiragane omukisa nga bagamba nti, ‘Katonda akuyise nga Efulayimu ne Manase.’ ” Bw’atyo n’ateeka Efulayimu mu maaso ga Manase.
21 Israel said to Joseph, "Look, I am about to die, but our Father will be with you and bring you back to your fathers' land. Ate Isirayiri n’agamba Yusufu nti, “Laba, nnaatera okufa, kyokka Katonda alibeera naawe era alikuzzaayo mu nsi ya bajjajjaabo.
22 And to you, rather than to your brothers, I have given one mountain slope that I took from the hand of the Amorites with my sword and with my bow." Wabula ggwe nkuwadde kinene okusinga baganda bo, nkuwadde ekitundu kimu ekikkirira olusozi, kye naggya ku Bamoli n’ekitala kyange n’omutego gwange.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]