Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Genesis 35 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Then our Father told Jacob, "Get up, go to Bethel, stay there, and build an altar to me, who appeared to you when you fled from your brother Esau." Katonda n’agamba Yakobo nti, “Golokoka oyambuke e Beseri, obeere eyo, ozimbire Katonda ekyoto, eyakulabikira bwe wadduka muganda wo Esawu.”
2 Jacob said to his household and all with him, "Discard the foreign gods among you, purify yourselves, and change your clothes. Awo Yakobo n’agamba ab’omu nnyumba ye ne bonna abaali naye nti, “Muggyeewo bakatonda abalala abali nammwe, mwetukuze mukyuse ebyambalo byammwe,
3 Let's go up to Bethel. I'll build an altar there to our Father, who answered me in my day of distress and stayed with me wherever I went." tulyoke twambuke tugende e Beseri ndyoke nzimbire Katonda ekyoto, Katonda eyanziramu mu nnaku ez’okunakuwala kwange, era abadde nange buli gye ŋŋenze.
4 They gave Jacob all the foreign gods in their hands and earrings in their ears; he hid them under Shechem's oak. Awo ne bawa Yakobo bakatonda abalala bonna be baalina, n’empeta ezaali ku matu gaabwe; Yakobo n’abiziika wansi w’omuvule ogwali okumpi ne Sekemu.”
5 They set out; terror from our Father struck the surrounding cities, so no one pursued Jacob's sons. Bwe baali batambula, entiisa ya Katonda n’egwa ku bibuga ebyali bibeetoolodde, ne batagoberera baana ba Yakobo.
6 Jacob came to Luz (Bethel) in Canaan, with all his people. Yakobo n’ajja e Luzi, ye Beseri, ekiri mu nsi ya Kanani, ye n’abantu bonna abaali naye.
7 There he built an altar, naming it El-Bethel—house of our Father—for there he revealed himself to Jacob when he fled from his brother. N’azimba eyo ekyoto, n’akituuma Erubeeseeri. Kubanga eyo Katonda gye yamweragira bwe yadduka muganda we.
8 Deborah, Rebekah's nurse, died and was buried below Bethel under the oak, named Allon-bacuth, oak of weeping. Debola omujjanjabi wa Lebbeeka n’afa n’aziikibwa wansi w’omuvule, wansi wa Beseri kyekyava kiyitibwa Alooninakusi.
9 Our Father appeared to Jacob again, when he came from Paddan-aram, and blessed him. Yakobo bwe yava mu Padanalaamu Katonda n’amulabikira, n’amuwa omukisa.
10 Our Father said to him, "Your name is Jacob, but it will no longer be Jacob—your name is Israel." He named him Israel. Katonda n’amugamba nti, “Erinnya lyo ggwe Yakobo; tokyaddayo kuyitibwa Yakobo, erinnya lyo linaabanga Isirayiri.” Bwe kityo erinnya lye ne liba Isirayiri.
11 Our Father told him, "I am El Shaddai, your Father Almighty. Be fruitful, multiply. A nation, a company of nations, will come from you; kings will come from your body. Katonda n’amugamba nti, “Ndi Katonda Ayinzabyonna: zaala oyale, eggwanga n’enkuyanja y’amawanga biriva mu ggwe, ne bakabaka balisibuka mu ggwe.
12 The land I gave Abraham and Isaac, I will give you; I will give to your offspring after you." Ensi gye nawa Ibulayimu ne Isaaka, ndigikuwa ggwe, era ndigiwa n’ezzadde lyo eririddawo.”
13 Then our Father went up from him in the place where he had spoken with him. Awo Katonda n’alinnya okuva waali mu kifo we yayogerera naye.
14 Jacob set up a pillar where our Father had spoken with him, a pillar of stone, and he poured out a drink offering on it and poured oil on it. Yakobo n’asimba empagi mu kifo Katonda mwe yayogerera naye, empagi ey’ejjinja; n’agiyiwako ekiweebwayo ekyokunywa, n’ayiwako n’amafuta.
15 Jacob named the place where our Father had spoken with him: Bethel. Yakobo ekifo Katonda we yayogerera naye n’akiyita Beseri.
16 They left Bethel, and while still some distance from Ephrath, Rachel went into labor—hard labor. Bwe baava e Beseri, era nga bakyali walako okuva Efulasi, Laakeeri n’alumwa, n’alumwa ddala nnyo.
17 During her hard labor, the midwife told her, "Don't be afraid—this too is a son." Bwe yali ng’alumwa bw’atyo omuzaalisa n’amugamba nti, “Totya kubanga kaakano onoofuna omwana omulala owoobulenzi.”
18 As her soul was leaving her—she was dying—she named him Ben-oni, son of my sorrow; but his father called him Benjamin, son of the right hand. Omwoyo bwe gwali gumuggwaamu ng’afa, n’amutuuma Benoni, naye kitaawe n’amuyita Benyamini.
19 So Rachel died, and she was buried on the way to Ephrath (that is, Bethlehem). Awo Laakeeri n’afa n’aziikibwa ku kkubo erigenda Efulasi (ye Besirekemu).
20 Jacob set a pillar on her grave—it is Rachel's grave pillar to this day. Yakobo n’asimba empagi ku malaalo ge, y’empagi y’amalaalo ga Laakeeri, ekyaliwo n’okutuusa kaakano.
21 Israel traveled and camped beyond Migdal-eder, the tower of the flock. Isirayiri ne yeeyongera okutambula, n’akuba eweema ye, emabega w’omunaala gwa Ederi.
22 While Israel lived in that land, Reuben went and slept with Bilhah, his father's concubine, and Israel heard. Jacob had twelve sons. Isirayiri bwe yali ng’ali mu nsi omwo Lewubeeni n’agenda ne yeebaka ne Biira omuweereza wa kitaawe, Isirayiri n’akiwulira. Batabani ba Yakobo baali kkumi n’ababiri.
23 The sons of Leah: Reuben, Jacob's firstborn, then Simeon, Levi, Judah, Issachar, and Zebulun. Batabani ba Leeya baali: Lewubeeni mutabani wa Yakobo omubereberye, ne Simyoni, ne Leevi, ne Yuda, ne Isakaali ne Zebbulooni.
24 The sons of Rachel: Joseph and Benjamin. Batabani ba Laakeeri ye: Yusufu ne Benyamini.
25 The sons of Bilhah, Rachel's maid: Dan and Naphtali. Batabani ba Biira, omuweereza wa Laakeeri be ba: Ddaani ne Nafutaali.
26 Sons of Zilpah, Leah's servant: Gad and Asher. These are Jacob's sons, born to him in Paddan-aram. Batabani ba Zirupa omuweereza wa Leeya be ba: Gaadi ne Aseri. Bano be batabani ba Yakobo abaamuzaalirwa mu Padanalaamu.
27 Jacob came to his father Isaac at Mamre, Kiriath-arba (Hebron), where Abraham and Isaac had lived. Awo Yakobo n’ajja eri kitaawe Isaaka e Mamule, oba Kiriyasaluba, ye Kebbulooni, Ibulayimu ne Isaaka mwe baatuulanga.
28 Isaac lived 180 years. Isaaka yawangaala emyaka kikumi mu kinaana.
29 Isaac breathed his last, died, and was gathered to his people—old, full of days. His sons Esau and Jacob buried him. Isaaka n’afa ng’akaddiye nnyo n’agenda abantu be gye bagenda, ng’amaze ennaku nnyingi, batabani be Esawu ne Yakobo ne bamuziika.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]