Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Ezra 4 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 When Judah and Benjamin's enemies heard the returned exiles were building our Father a temple, Awo abalabe ba Yuda ne Benyamini bwe baawulira ng’abaana ba Isirayiri abaali mu buwaŋŋanguse batandise okuddaabiriza yeekaalu ya Mukama, Katonda wa Isirayiri,
2 they came to Zerubbabel and the family heads and said, "Let us build with you—we seek your God as you do, and have sacrificed to him since the days of Esarhaddon king of Assyria, who brought us up here." ne bagenda eri Zerubbaberi n’abakulu b’ebika ne boogera nti, “Mutukkirize tubayambeko okuzimba, kubanga tuli nga mmwe, era tusinza Katonda wammwe, era okuva ku mirembe gya Esaludaddoni kabaka w’e Bwasuli, eyatuleeta wano tuwaayo ssaddaaka eri Katonda wammwe.”
3 But Zerubbabel, Jeshua, and Israel's other family heads said to them, "You have no part with us in building a house for our Father. We alone will build for our Father, as King Cyrus of Persia commanded us." Naye Zerubbaberi ne Yesuwa n’abakulu b’ebika bya Isirayiri abalala ne babaddamu nti, “Temulina mugabo naffe mu kuddaabiriza yeekaalu ya Katonda waffe. Tuligizimbira Mukama Katonda wa Isirayiri ffekka, nga kabaka Kuulo kabaka w’e Buperusi bwe yatulagira.”
4 Then the land's people weakened Judah's people's hands, terrifying them from building. Awo abantu be baalimu ne bamalirira okulemesa abantu ba Yuda, ne babatiisatiisa okuzimba.
5 They paid off advisers to work against them and undercut their plan, all through Cyrus king of Persia's reign to Darius king of Persia's reign. Ne bagulirira abantu okubawakanya n’okulemesa enteekateeka yaabwe, ebbanga lyonna Kuulo kabaka w’e Buperusi lye yafuga, okutuusa Daliyo kabaka w’e Buperusi lwe yalya obwakabaka.
6 Early in Xerxes's reign, they wrote an accusation against the residents of Judah and Jerusalem. Awo ku mirembe gya Akaswero nga ky’ajje alye obwakabaka, abalabe baabwe ne baawandiika ebintu eby’obulimba ne baloopa abantu ba Yuda ne Yerusaalemi.
7 In Artaxerxes' reign, Bishlam, Mithredath, Tabeel, and their colleagues wrote to Artaxerxes king of Persia; the letter was written in Aramaic script and translated into the Aramaic language. Awo mu biro bya Alutagizerugizi, Bisulamu ne Misuledasi ne Tabeeri ne bannaabwe abalala ne bawandiikira Alutagizerugizi ebbaluwa mu nnukuta ez’Aramayika ne mu lulimi Olwaramayika.
8 Rehum the commander and Shimshai the scribe wrote a letter against Jerusalem to King Artaxerxes: Lekumu ow’essaza, ne Simusaayi omuwandiisi ne bawandiikira Alutagizerugizi ebbaluwa ekwata ku Yerusaalemi.
9 Rehum the commander, Shimshai the scribe, and the rest of their colleagues—the judges, officials, and administrators over the people of Erech, the Babylonians, and the people of Susa (that is, the Elamites), Lekumu ow’essaza ne Simusaayi omuwandiisi awamu ne bannaabwe abalala, abalamuzi n’abakungu, n’Abaperusi, n’Abalukevi, n’Abababulooni, n’Abasusanuki, n’Abaweramu,
10 and the other nations that great, noble Osnappar deported and settled in the city of Samaria and the rest of the province Beyond the River. n’amawanga amalala, omukungu Osunappali be yakomyawo, n’abateeka mu bibuga bya Samaliya ne mu bitundu ebirala ebiri emitala w’omugga Fulaati ne bawandiika nti:
11 Copy of the letter sent to him: To King Artaxerxes, from your servants, the people of the province Beyond the River. And now, Ebbaluwa gye baawandiikira kabaka yali egamba nti, Eri kabaka Alutagizerugizi, Okuva eri abaddu bo abasajja ab’omu ssaza eriri emitala w’omugga Fulaati.
12 let the king know: the Jews who came up from you to us have reached Jerusalem. They're rebuilding that rebellious, wicked city, finishing the walls and repairing the foundations. Kabaka asaanye ategeere nti Abayudaaya abaava gy’oli ne bajja gye tuli bagenze e Yerusaalemi okuddaabiriza ekibuga ekyo ekijeemu eky’abantu abakozi b’ebibi. Batandise okuddaabiriza emisingi n’okuzaawo bbugwe.
13 The king should know: if this city is rebuilt and its walls finished, they will pay no tribute, tax, or toll, and the royal treasury will suffer loss. Ne nsonga endala, kabaka asaanye akimanye ng’ekibuga ekyo bwe kirizimbibwa ne bbugwe bw’aliggwa okukola, tebalisasula misolo nate, newaakubadde okuwa empooza, era ekiriva mu ekyo bwe bwakabaka okufiirwa.
14 Since we depend on the palace for our living, and it's not right for us to see the king disrespected, we send word to inform the king, Kale nno, olw’okuba nga tulina obuvunaanyizibwa eri obwakabaka, ate nga tetwandiyagadde kulaba nga kabaka aswazibwa, kyetuvudde tuweereza obubaka buno eri kabaka,
15 so that a search may be made in the records of your ancestors. In those records you will find this city rebellious, harmful to kings and provinces, stirring revolt since ancient times—destroyed for that reason. banoonye mu bitabo eby’okujjukiza ebya bajjajjaabo. Mu bitabo ebyo ojja kuzuula ng’ekibuga ekyo kibuga kijeemu, ekyalumya emitwe gya bakabaka n’abaamasaza, era nga kifo ekimanyiddwa ng’ekijeemu okuva mu biro eby’edda. Era kyekyava kizikirizibwa.
16 We inform the king: if this city is rebuilt and its walls finished, you will have no portion in Beyond the River. Tukakasa kabaka nti ekibuga kino bwe kirizimbibwa ne bbugwe waakyo n’azzibwawo, tolibaako ne ky’osigaza emitala w’omugga Fulaati.
17 The king replied: To Rehum the commander, Shimshai the scribe, and their colleagues in Samaria and the rest of Beyond the River: Greetings. Now then, Awo kabaka n’abaddamu bw’ati nti: Eri Lekumu ow’essaza, ne Simusaayi omuwandiisi ne bannaabwe abalala abaabeeranga mu Samaliya, ne mu bifo ebirala ebiri mu ssaza eriri emitala w’omugga Fulaati, Mbalamusizza.
18 the letter you sent us has been read aloud and translated to me. Ebbaluwa gye mwatuweereza esomeddwa mu maaso gange ne ngitegeera.
19 I ordered a search, and found this city has long risen against kings, stirring rebellion and revolt. Nalagira, okunoonyereza ne kukolebwa, era ne kizuulibwa ng’ekibuga ekyo, okuva edda kijeemera bakabaka, era ng’obujeemu n’ekyejo byakolebwanga omwo.
20 Powerful kings ruled Jerusalem, governed all Beyond the River, and received tribute, tax, and toll. Yerusaalemi kyalina bakabaka ab’amaanyi abaafuganga essaza lyonna eriri emitala w’omugga Fulaati, era baaweebwanga emisolo, n’empooza okuva mu kitundu ekyo.
21 Now order these men to stop, so this city is not rebuilt until I command it. Kaakano muweereze ekiragiro eri abasajja abo bakomye omulimu ogw’okuddaabiriza ekibuga ekyo okutuusa ate bwe ndibalagira.
22 Don't neglect this matter. Why should this threat grow and harm the interests of the kings? Musseeyo nnyo omwoyo okulaba nga temutenguwa mu nsonga eyo. Lwaki tukkiriza ensonga eyo okugenda mu maaso, okuleeta okufiirwa eri obwakabaka?
23 Once the copy of King Artaxerxes' letter was read to Rehum, Shimshai the scribe, and their associates, they rushed to the Jews in Jerusalem and stopped them by force and power. Amangwago ebbaluwa eyava ewa kabaka Alutagizerugizi bwe yasomerwa Lekumu ne Simusaayi omuwandiisi ne bannaabwe, ne bayanguwa okugenda eri Abayudaaya e Yerusaalemi, ne babalekesaayo n’amaanyi okugenda mu maaso.
24 So work on the house of our Father in Jerusalem stopped and stayed stopped, until the second year of the reign of Darius king of Persia. Awo omulimu ku nnyumba ya Katonda mu Yerusaalemi ne guyimirira okutuusa omwaka ogwokubiri ogw’omulembe gwa Daliyo kabaka w’e Buperusi.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]