Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Deuteronomy 33 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 This is the blessing Moses, the man of our Father, gave the Israelites before his death. Guno gwe mukisa, Musa musajja wa Katonda gwe yasabira abaana ba Isirayiri nga tannafa.
2 He said: Our Father came from Sinai, dawned on us from Seir, shone from Mount Paran. He came with myriads of holy ones, fire flashing from his right hand. Yagamba nti, “Mukama Katonda yajja gye tuli ng’ava ku Sinaayi n’atutuukako ng’ava ku Seyiri; yamasamasa ng’ava ku Lusozi Palani. Yajja n’obufukunya bw’abatukuvu okuva ku bukiika obwaddyo obw’ensozi ze.
3 Truly he loves the peoples; all his holy ones are in your hand. They followed at your feet, each receiving direction from you. Mazima gw’oyagala abantu, abatukuvu bonna bali mu mikono gyo. Bavuunama wansi ku bigere byo ne bawulira ebiragiro by’obawa.
4 Moses commanded us a law, a possession for the assembly of Jacob. Ge mateeka Musa ge yatuwa ng’ekyokufuna eky’ekibiina kya Yakobo.
5 So he became King in Jeshurun, when the leaders of the people gathered, the tribes of Israel together. Waasitukawo kabaka mu Yesuluuni abakulembeze b’abantu bwe baakuŋŋaana nga bye bika bya Isirayiri ebyegasse.
6 Let Reuben live and not die, nor let his people be few. “Lewubeeni abenga mulamu; alemenga kuggwaawo n’omuwendo gw’abasajja be gulemenga kukendeera.”
7 Of Judah he said: Hear, our Father, Judah's voice; bring him to his people. His hands fight for him; be his help against his foes. Kino kye yayogera ku Yuda: “Wulira, Ayi Mukama Katonda okukaaba kwa Yuda; omuleete eri abantu be. Yeerwaneko n’emikono gye. Omuyambenga ng’alwanyisa abalabe be!”
8 Of Levi he said: Your Thummim and Urim to your faithful man, whom you tested at Massah, quarreled with at Meribah's waters, Bino bye yayogera ku Leevi: “Sumimu wo ne Ulimu wo biwe omusajja oyo gw’oyagala ennyo. Wamukebera e Masa n’omugezesa ku mazzi ag’e Meriba.
9 who said of his father and mother, 'I do not regard them'; he did not acknowledge his brothers or know his own children. For they kept your word and guarded your covenant. Yayogera ku kitaawe ne nnyina nti, ‘Abo sibafaako.’ Baganda be teyabategeeranga wadde okusembeza abaana be; baalabiriranga ekigambo kyo ne bakuumanga endagaano yo.
10 They teach your judgments to Jacob and your law to Israel; they place incense before you and whole burnt offerings on your altar. Banaayigirizanga Yakobo ebiragiro byo ne Isirayiri amateeka go. Banaanyookezanga obubaane mu maaso go, n’ebiweebwayo ebyokebwa ku kyoto kyo.
11 Bless, our Father, his strength, and accept the work of his hands. Crush the loins of those who rise against him, of those who hate him, that they rise no more. Ayi Mukama Katonda owe omukisa byonna by’akola, era okkirize emirimu gy’emikono gye. Okubirenga ddala abo abamugolokokerako okubenga abalabe be balemenga kwongera kumulumbanga.”
12 Of Benjamin he said: our Father's beloved settles safely beside him; our Father shelters Benjamin all day, and Benjamin rests between his shoulders. Bye yayogera ku Benyamini: “Omwagalwa wa Mukama Katonda abeerenga wanywevu, Katonda Ali Waggulu ng’amwebulungudde bulijjo, omwagalwa anaagalamiranga wakati ku bibegabega bye.”
13 Of Joseph he said: May our Father bless his land with heaven's best gifts above, with dew, and the deep crouching below, Yayogera bw’ati ku Yusufu: “Ettaka lye Mukama Katonda aliwe omukisa, n’omusulo omulungi ennyo ogunaavanga waggulu mu ggulu n’amazzi mu nzizi empanvu mu ttaka wansi,
14 with the choicest fruits ripened by the sun, and the rich yield of the months, n’ebibala ebigimu ennyo ebinaavanga mu musana, n’amakungula aganaasinganga mu myezi gyonna;
15 with the finest produce of the ancient mountains and the abundance of the everlasting hills, n’ebibala ebinaakiranga obulungi ku nsozi ez’edda, n’okwala kw’ebirime ku nsozi ez’emirembe gyonna;
16 with the best gifts of the earth and its fullness, and the favor of him who dwelt in the bush. May these rest on the head of Joseph, on the crown of the one set apart from his brothers. n’ebirabo ebisinga byonna mu nsi n’okujjula kwayo, n’obuganzi obunaavanga eri oyo ow’omu kisaka ekyaka. Ebyo byonna ka bijjenga ku mutwe gwa Yusufu, mu kyenyi ky’omulangira mu baganda be.
17 His firstborn bull—majesty is his; his horns are the horns of a wild ox. With them he gores the peoples, all of them, to the ends of the earth. Such are the myriads of Ephraim, and such are the thousands of Manasseh. Mu kitiibwa anaabanga ente ennume embereberye amayembe ge, ng’amayembe ga sseddume endalu; anaagatomezanga amawanga n’agayuzaayuza, n’agagoberanga ku nkomerero y’ensi. Obwo bwe bunaabanga obukumi bwa Efulayimu nga ze nkumi za Manase.”
18 Of Zebulun he said: Rejoice, Zebulun, as you go out, and Issachar, in your tents. Yayogera bw’ati ku Zebbulooni: “Jaguzanga, ggwe Zebbulooni, bw’onoofulumanga; ne Isakaali ng’ali mu weema zo.
19 They call peoples to the mountain; there they offer right sacrifices, for they draw out the abundance of the seas and the hidden treasures of the sand. Banaakoowoolanga amawanga okwambuka ku nsozi ne baweerangayo eyo ssaddaaka ez’obutuukirivu, banaalyanga eby’obugagga ebya mayanja, nga beeyambisa n’ebyobugagga ebikweke mu musenyu.”
20 Of Gad he said: Blessed is he who enlarges Gad! He crouches like a lion, tearing arm and scalp. Yayogera bw’ati ku Gaadi: “Alina omukisa oyo agaziya ensalo z’omugabo gwa Gaadi, Gaadi omwo mw’abeera ng’empologoma ng’ayuza omukono n’omutwe.
21 He chose the best for himself, for there a commander's portion was reserved. He came with the leaders of the people; he carried out the justice of our Father and his judgments for Israel. Yeerondera omugabo gw’ettaka erisinga obulungi, omugabo gw’omukulembeze gwe gwamukuumirwa. Abakulembeze b’abantu bwe baakuŋŋaana ye yabasalira emisango gya Mukama, n’okukwasa Isirayiri amateeka ga Mukama Katonda.”
22 Of Dan he said: Dan is a lion's cub that leaps out from Bashan. Yayogera bw’ati ku Ddaani: “Ddaani mwana gwa mpologoma, ogubuuka nga guva mu Basani.”
23 Of Naphtali he said: Naphtali, satisfied with favor, full of our Father's blessing—inherit the sea and south. Yayogera bw’ati ku Nafutaali: “Ggwe Nafutaali ajjudde obuganzi bwa Mukama Katonda era ng’ojjudde emikisa gye, onoosikira obukiikaddyo okutuuka ku nnyanja.”
24 Of Asher he said: Most blessed of sons be Asher—may he be favored by his brothers, dipping his foot in oil. Yayogera bw’ati ku Aseri: “Asinga okuweebwa omukisa mu batabani ye Aseri, ku baganda be gwe babanga basinga okwagala era emizabbibu gigimuke nnyo mu ttaka lye.
25 Your bars will be iron and bronze, and as your days, so will your strength be. Enzigi z’ebibuga byo zinaasibwanga n’eminyolo egy’ekyuma n’ekikomo n’amaanyi go ganenkananga n’obuwangaazi bwo.
26 There is none like our Father, Jeshurun, who rides through the heavens to help you, and in his majesty through the skies. “Tewali afaanana nga Katonda wa Yesuluuni eyeebagala waggulu ku ggulu ng’ajja okukuyamba ne ku bire mu kitiibwa kye.
27 The eternal Father is your dwelling place, and underneath are the everlasting arms. He drove out the enemy before you and said, 'Destroy!' Katonda ataggwaawo bwe buddukiro bwo, era akuwanirira n’emikono gye emirembe gyonna. Anaagobanga abalabe bo nga naawe olaba, n’agamba nti, ‘Bazikirize!’
28 So Israel dwells in safety; the fountain of Jacob is set apart in a land of grain and new wine, where the heavens drop down dew. Bw’atyo Isirayiri anaabeeranga mu mirembe yekka, ezzadde lya Yakobo linaabeeranga wanywevu, mu nsi erimu emmere y’empeke ne wayini, eggulu mwe linaatonnyezanga omusulo.
29 Blessed are you, Israel! Who is like you, a people saved by our Father, the shield of your help and the sword of your majesty! Your enemies will come cringing to you, and you will tread on their high places. Nga weesiimye, Ayi Isirayiri! Ani akufaanana, ggwe eggwanga Mukama Katonda lye yalokola? Ye ngabo yo era omubeezi wo, era kye kitala kyo ekisinga byonna. Abalabe bo banaakuvuunamiranga, era onoobalinnyiriranga.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]