Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Deuteronomy 29 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 These are the covenant words our Father commanded Moses to make with the Israelites in Moab, besides the covenant he made with them at Horeb. Bino bye bigambo by’endagaano Mukama Katonda gye yalagira Musa okukola n’abaana ba Isirayiri nga bali mu nsi ya Mowaabu, ng’egattibwa ku ndagaano gye yali akoze nabo ku Kolebu.
2 Moses called all Israel and told them: You saw all our Father did before your eyes in Egypt's land—to Pharaoh, all his servants, all his land. Awo Musa n’ayita Abayisirayiri bonna n’abagamba nti, Mwalaba n’amaaso gammwe ebyo byonna Mukama Katonda bye yakolera mu nsi y’e Misiri ku Falaawo ne ku bakungu be, ne ku nsi ye yonna.
3 The great tests you saw with your own eyes, those mighty signs and wonders. Walaba n’amaaso go ebigezo ebinene, n’obubonero obw’ebyamagero, n’ebyewuunyisa ebikulu.
4 But to this day our Father has not given you a heart to know, eyes to see, ears to hear. Naye n’okutuusa ku lunaku lwa leero Mukama tabawanga mutima ogutegeera, oba amaaso agalaba, oba amatu agawulira.
5 "Forty years I led you in the wilderness; your clothes never wore out, nor your sandals on your feet. Bwe nabakulembera okumala emyaka amakumi ana mu ddungu engoye zammwe tezaakaddiwako, n’engatto y’omu kigere kyo teyakaddiwa.
6 You ate no bread, drank no wine or strong drink, so you would know I am your Father." Temwalya ku mugaati wadde okunywa ku nvinnyo, oba ku kyokunywa ekirala kyonna ekitamiiza. Ekyo nakikola mulyoke mumanye nga nze Mukama Katonda wammwe.
7 When you reached this place, Sihon king of Heshbon and Og king of Bashan marched out against us, and we struck them. Bwe mwatuuka mu kifo kino, Sikoni kabaka w’e Kesuboni, ne Ogi kabaka w’e Basani, ne basituka okutulwanyisa, naye ne tubawangula.
8 We took their land and gave it as an inheritance to the Reubenites, Gadites, and half-tribe of Manasseh. Twatwala ensi yaabwe, ne tugigabira Abalewubeeni, n’Abagaadi, n’ekitundu ky’ekika eky’Abamanase, okuba obutaka bwabwe obw’ensikirano.
9 Keep the words of this covenant and do them, so you may prosper in all you do. Noolwekyo mukwatenga ebigambo by’endagaano eno n’obwegendereza, mulyoke muwangulenga mu buli kimu kye munaakolanga.
10 Today you all stand before your Father: your tribal heads, elders and officers, every man of Israel, Mukuŋŋaanye wano leero mwenna mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, nga muli n’abakulembeze b’ebika byammwe, n’abakulu bammwe abakulembeze, n’abafuzi bammwe, n’abasajja bonna aba Isirayiri,
11 your little ones, wives, and the foreigner in your camp, from those cutting your wood to those drawing your water, n’abaana bammwe abato, ne bakazi bammwe, ne munnaggwanga asula awamu naawe mu lusiisira lwo, okukutyabira enku, n’okukukimira amazzi.
12 so you may enter the covenant of your Father, and his oath, which your Father makes with you today, Oli wano okukola endagaano ne Mukama Katonda wo, ng’ekirayiro gy’ali, Mukama Katonda wo gy’akola naawe leero;
13 to make you his people today, and to be your Father, as he promised you and swore to your ancestors Abraham, Isaac, and Jacob. alyoke akukakase ng’akunyweza leero okubeeranga eggwanga lye, naye nga ye Katonda wo, nga bwe yakusuubiza, era nga bwe yalayirira bakadde bo: Ibulayimu ne Isaaka.
14 It is not with you alone that I am making this covenant, sworn with an oath, Endagaano eno gye nkola, ng’eriko n’ekirayiro kyayo,
15 but with everyone standing here with us today before our Father, and with everyone not here with us today. sigikola nammwe abayimiridde wano naffe leero mwekka, wabula ngikola wamu n’oyo atali wano naffe leero.
16 You know how we lived in Egypt and passed through the nations you traveled among. Mujjukira bulungi nga bwe twali mu nsi y’e Misiri, ne bwe twajjanga tuyita wakati mu mawanga okutuukira ddala wano.
17 You saw their detestable things and idols of wood, stone, silver, and gold among them. Mwalabanga ebintu eby’ekikaafiiri, nga mwe mwalinga ebifaananyi ebibajje mu miti n’ebiwoole mu mayinja ne mu ffeeza ne mu zaabu.
18 Let no one among you—man, woman, clan, or tribe—turn his heart today from our Father to serve those nations' gods, and let no root among you bear poison and bitter fruit, Mukakasize ddala leero nga mu maka gammwe oba mu bika byammwe temulinaamu musajja oba mukazi n’omu akyamizza omutima gwe okuva ku Mukama Katonda waffe agende asinze bakatonda bali abalala abamawanga ago. Mukakasize ddala nga mu mmwe temuliimu kikolo okuyinza okukula obutwa obw’engeri eyo obukaawa ng’omususa.
19 who hears the words of this oath yet congratulates himself inwardly, saying, I'll be safe though I follow my stubborn heart—sweeping away the watered land with the dry. Omuntu ow’engeri ng’eyo ng’awulidde ebigambo eby’ekikolimo kino n’amala yeeyibaala, ne yeetukuza ku bubwe yekka, n’alowooza munda ye nti, “Nzija kubeera bulungi newaakubadde nga mmaliridde okukwata ekkubo eryange ery’obujeemu,” ekyo kinaaletanga akacwano ku ttaka erinnyogovu obulungi ne ku kkalu.
20 Our Father will refuse to forgive him; instead his anger and jealousy will burn against that man, every curse written in this book will settle on him, and our Father will erase his name from under heaven. Mukama taamusonyiwenga, kubanga obusungu bwa Mukama n’ekiruyi kye binaabuubuukiranga ku muntu oyo. Ebikolimo byonna ebiwandiikiddwa mu Kitabo kino binaamukkangako, era Mukama alisangula erinnya lye n’aliggya wansi w’eggulu.
21 Our Father will single him out for disaster from all the tribes of Israel, matching every covenant curse written in this Book of the Law. Mukama anaamwawulanga n’amuggya mu bika byonna ebya Isirayiri n’amubonereza nnyo, nga bwe kiri mu bikolimo byonna eby’endagaano ebiwandiikiddwa mu Kitabo ky’Amateeka kino.
22 The next generation, your children after you, and the foreigner from a distant land, will see that land's plagues and the diseases our Father inflicted on it. Abaana bammwe abaliddawo ne bannamawanga abaliva mu nsi ezeewala baliraba ekibonerezo ekiriba kigudde ku nsi n’obulwadde Mukama bw’aliba aleese ku ttaka ly’ensi.
23 Sulfur and salt, the whole land burned, unsown, sprouting nothing, no plant growing there, like the ruin of Sodom, Gomorrah, Admah, and Zeboiim, which our Father ruined in his anger and wrath, Ettaka liriba lyonoonese nga lya munnyo n’amayinja agookya, nga tekuyinza kusimbibwako kintu wadde okubaako n’ekimerako, nga n’omuddo tegusobola kumerako. Ensi erifaanana ng’okuzikirizibwa kwa Sodomu, ne Ggomola, ne Aduma, ne Zeboyimu, Mukama bye yazikiriza mu busungu bwe obungi.
24 all nations will ask, Why did our Father do this to this land? What is this great burning anger? Amawanga galyebuuza nga geewunya nti, “Lwaki Mukama akoze ekintu kino, n’akikola n’obusungu obungi butyo?”
25 They will answer: Because they abandoned the covenant of our Father, the God of their fathers, made with them when he brought them out of Egypt's land, Na kino kye kiriba eky’okuddamu nti, “Kubanga abantu bano basudde eri endagaano ya Mukama Katonda wa bajjajjaabwe, endagaano gye yakola nabo bwe yabaggya mu nsi y’e Misiri.
26 and served other gods, bowing to them—gods they never knew, that he never assigned them. Baagenda ne basinza bakatonda abalala, ne babaweereza, bakatonda be baali batamanyi, era Katonda waabwe be yali tabawadde.
27 So our Father's anger burned against that land, bringing on it every curse written in this book. Bwe butyo obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira ku nsi eyo, n’agireetako ebikolimo byonna ebiwandiikiddwa mu Kitabo kino.
28 And our Father uprooted them from their land in anger, rage, and great outrage, and threw them into another land, as it is today. Mukama n’abasiguukulula mu nsi yaabwe ng’aliko ekiruyi, era ng’ajjudde obusungu bungi, n’abakasuka mu nsi endala, nga bwe kiri leero.”
29 The secret things belong to our Father, but the things revealed belong to us and our children forever, to do all the words of this law. Ebintu eby’ekyama bya Mukama Katonda waffe, naye ebyo ebyabikkulibwa bye byaffe n’abaana baffe emirembe gyonna, tulyoke tugonderenga ebigambo byonna ebiri mu mateeka gano.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]