Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Daniel 9 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 In the first year of Darius son of Xerxes, a Mede, made king over the Babylonian realm. Mu mwaka ogw’olubereberye ogwa Daliyo mutabani wa Akaswero Omumeedi, gwe yaliiramu obwakabaka bwa Bakaludaaya,
2 In his reign's first year, I, Daniel, understood from the books how many years our Father told Jeremiah the prophet: seventy, to complete Jerusalem's ruins. mu mwaka ogwo ogw’olubereberye, nze Danyeri ne ntegeera amakulu ag’ebyawandiikibwa, ng’ekigambo kya Mukama bwe kiri kye yawa Yeremiya nnabbi, ng’okubonaabona kwa Yerusaalemi kulitwala emyaka nsanvu.
3 So I turned my face to the Sovereign Father, to seek him in prayer and pleading, with fasting, sackcloth, and ashes. Awo ne nkyukira Mukama Katonda ne nnoonya okubeerwa okuva gyali nga nsaba era nga neegayirira, nga nsiiba era nga nyambadde ebibukutu nga neesiize evvu.
4 I prayed to my Father, confessing: "Sovereign Father, great and awesome, keeping covenant and faithful love for those loving him and keeping his commands, Ne nsaba Mukama Katonda wange ne mwatulira nti, “Ayi Mukama omukulu era ow’entiisa, akuuma endagaano ye so n’okwagala kwo tekujjulukuka eri abo bonna abakwagala era abagondera ebiragiro byo,
5 we have sinned, done wrong, done evil, rebelled, turning from your commands and rulings. twonoonye era tusobezza, tukoze eby’ekyejo n’eby’obujeemu, era
6 We haven't listened to your servant prophets speaking in your name to our kings, princes, ancestors, and all the land's people. tetwawuliriza baddu bo bannabbi, abaayogeranga mu linnya lyo eri bakabaka baffe, n’eri abalangira baffe, n’eri bajjajjaffe, n’eri abantu bonna ab’omu nsi.
7 Righteousness is yours, Sovereign Father, but ours is open shame today—Judah's people, Jerusalem's residents, all Israel, near and far, in every land where you drove them for their unfaithfulness to you. “Mukama oli mutukuvu, naye olunaku lwa leero tuswadde, abantu ba Yuda, n’abatuuze ba Yerusaalemi, ne Isirayiri yenna, abali okumpi n’abali ewala mu nsi zonna gye wabawaŋŋangusiriza olw’obutaba beesigwa gy’oli.
8 O our Father, open shame belongs to us—our kings, princes, and ancestors—because we sinned against you. Ayi Mukama, ffe ne bakabaka baffe, n’abalangira baffe, ne bajjajjaffe tuswadde kubanga twonoonye.
9 To the Sovereign Father belong mercy and forgiveness, for we have rebelled against him, Mukama Katonda waffe ajjudde okusaasira n’okusonyiwa, newaakubadde nga tumujeemedde,
10 and we disobeyed our Father's voice to walk in his laws set before us through his servants the prophets. ne tutawuliriza ddoboozi lya Mukama Katonda waffe, newaakubadde okukuuma amateeka ge, ge yatuwa ng’ayita mu baddu be bannabbi.
11 All Israel broke your law and turned away, refusing to obey your voice. So the curse and the sworn oath written in the Law of Moses, our Father's servant, poured out on us, because we sinned against him. Isirayiri yenna bamenye amateeka go ne bakuvaako, era bakujeemedde. “Noolwekyo ebikolimo n’ebirayiro ebyawandiikibwa mu mateeka ga Musa omuddu wa Mukama kyebivudde bitutuukako kubanga twayonoona mu maaso go.
12 He confirmed his words against us and our judges who judged us, bringing great disaster on us; nothing under all heaven matches what happened to Jerusalem. Otuukirizza ebigambo bye watwogerako, n’eri abakulembeze baffe, bw’otuleeseeko akabi akanene; era wansi w’eggulu tewabangawo kintu kinene bwe kityo ekyakolebwa, ng’ekyo ekituuse ku Yerusaalemi.
13 As written in the Law of Moses, all this disaster came on us; yet we have not sought our Father's favor by turning from our sins and understanding your truth. Nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka ga Musa, bwe bityo ebisobyo byonna bwe byatutuukako, naye ate nga tetunneegayirira kisa kya Mukama Katonda waffe, okulekayo ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu tusseeyo omwoyo okugoberera amazima.
14 So our Father readied the disaster and brought it on us, for our Father is righteous in all he does; but we did not obey his voice. Mukama kyeyava talwa kutuleetako buzibu obwo, kubanga Mukama Katonda waffe mutuukirivu mu buli ky’akola, naye tetugondedde ddoboozi lye.
15 And now, Sovereign Father, you brought your people out of Egypt with a strong hand and made yourself a name lasting to this day—we sinned, we did wrong. “Ggwe, Ayi Mukama Katonda waffe eyaggya abantu bo mu nsi ey’e Misiri n’omukono gwo ogw’amaanyi ne weekolera erinnya, eryayatiikirira ne leero, twayonoona ne tukola ebitali bya butuukirivu.
16 Sovereign Father, by all your righteous acts, turn your anger and rage from your city Jerusalem, your holy mountain—for our sins and our ancestors' wrongdoing made Jerusalem and your people a disgrace to all around us. Ayi Mukama, ng’obutuukirivu bwo bwonna bwe buli, obusungu bwo n’ekiruyi kyo obiggye ku kibuga kyo Yerusaalemi, olusozi lwo olutukuvu, kubanga olw’ebibi byaffe n’ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu ebya bajjajjaffe, tufuuse eky’okusekererwa eri abatwetoolodde bonna.
17 Now, our Father, hear your servant's prayer and pleas, and shine your face on your desolate sanctuary, for your own sake, Sovereign Father. “Kaakano, Ayi Katonda waffe, owulire okusaba n’okwegayirira kw’omuddu wo, olw’okusaasira kwo Ayi Mukama otunule eri ekifo kyo ekitukuvu.
18 Turn your ear toward us, my Father, and hear; open your eyes, see our ruins and the city called by your name. We bring our pleas before you not for our righteousness but your great mercy. Ayi Katonda wange, otege okutu kwo owulirize, otunuulire okuzika kw’ekibuga ekyatuumibwa erinnya lyo, kubanga tetuleeta byetaago byaffe eri ggwe olw’obutuukirivu bwaffe, wabula olw’okusaasira kwo okungi.
19 Sovereign Father, hear! Sovereign Father, forgive! Sovereign Father, listen and act! Don't delay, for your sake, my Father, because your city and your people bear your name." Ayi Mukama otuwulire! Ayi Mukama, otusonyiwe! Ayi Mukama otuwulire era obeeko ne ky’okolawo! Olw’okusaasira kwo, Ayi Katonda wange oleme okulwa, kubanga ekibuga kyo n’abantu bo n’eggwanga lyo bayitibwa Erinnya lyo.”
20 Still speaking, praying, confessing my sin and my people Israel's sin, laying my plea before my Father for my Father's holy hill, Awo bwe nnali nga njogera era nga nsaba, nga njatula ebibi byange n’ebibi by’abantu bange Isirayiri, nga neegayirira Mukama Katonda wange ku lw’olusozi lwe olutukuvu,
21 while I was still praying, Gabriel, the man I saw earlier in the vision, reached me, flying fast, about the time of the evening offering. awo mu kiseera ekyo nga nkyasaba, omusajja Gabulyeri, gwe nalaba mu kwolesebwa okwasooka, n’ajja gye ndi mu mbuyaga ey’amaanyi mu kiseera ekya ssaddaaka ey’akawungeezi.
22 He gave me insight, speaking with me and saying, "Daniel, I have now come out to give you insight and understanding. N’aŋŋamba nti, “Danyeri, kaakano nzize okukuwa amagezi n’okutegeera.
23 As your pleas began, a word went out, and I came to tell you, for you are deeply loved. So weigh the word and understand the vision: Amangu nga waakatandika okusaba, okwegayirira kwo kwaddibwamu era nzize okukutegeeza, kubanga oli mwagalwa nnyo. Noolwekyo ssaayo omwoyo eri ekigambo kino, otegeere bye wayolesebwa.
24 "Seventy weeks are decreed for your people and your holy city: to end wrongdoing, finish sin, atone for guilt, bring in everlasting righteousness, seal vision and prophet, and anoint a most holy place. “Wiiki nsavu ze ziweereddwa abantu bo n’ekibuga kyo ekitukuvu okukomya ebikolwa byabwe ebibi, n’okuleka ebibi, n’okutangiririrwa olw’ebikolwa ebitali bya butuukirivu, n’okuleeta obutuukirivu obutaliggwaawo, n’okukakasa ebyo ebyayolesebwa n’ebyo ebyalangibwa, n’okufuka amafuta ku asinga obutukuvu.
25 Know therefore and understand: from the time the command goes out to restore and rebuild Jerusalem until the coming of the Anointed One, the Prince, there will be seven weeks and sixty-two weeks. It will be rebuilt with streets and a moat, but in troubled times. “Manya era tegeera ng’okuva ne kaakano ekiragiro nga bwe kiweereddwa ku kuzzibwawo kwa Yerusaalemi n’okutuusa ku kujja okw’omufuzi oyo eyafukibwako amafuta, waliba ebbanga lya wiiki musanvu. N’oluvannyuma kirizimbibwa mu wiiki nkaaga mu bbiri ne kiteekebwamu enguudo n’olusalosalo, newaakubadde nga biriba biro bya kutegana.
26 And after the sixty-two weeks the Anointed One will be cut off and will have nothing. The people of the prince who is to come will destroy the city and the sanctuary. Its end will come like a flood, and to the end there will be war; desolations are decreed. N’oluvannyuma lwa wiiki enkaaga mu ebbiri, eyafukibwako amafuta alisalibwako, era taliba na kintu. Abantu ab’omufuzi balijja ne bazikiriza ekibuga n’awatukuvu, n’enkomerero ye erijja ng’amataba, n’entalo era n’okuzika okwalagirwa biryeyongera okutuusa ku nkomerero.
27 He will confirm a covenant with many for one week; mid-week he will stop sacrifice and offering. On a temple wing he will set up an abomination that causes desolation, until the decreed end pours on the desolator." Alikola endagaano enywevu n’abantu bangi okumala wiiki emu, naye wakati wa wiiki eyo aliggyawo emikolo gya ssaddaaka n’ebiweebwayo. Ne ku kiwaawaatiro eky’ebyemizizo kulijjirako oyo aleeta okubonaabona, okutuusa ekiseera eky’enkomerero ekyalagirwa nga kituukiridde ku ye.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]