Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Daniel 4 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 King Nebuchadnezzar, to all peoples, nations, and languages living throughout the earth: May your peace be multiplied. Kabaka Nebukadduneeza n’alangirira eri abantu, n’amawanga n’abantu ab’ennimi eza buli ngeri, mu nsi yonna bw’ati nti: Emirembe gibeere nammwe!
2 I am glad to declare the signs and wonders the Most High God has done for me. Lye ssanyu lyange okubategeeza ku bigambo eby’amagero era ebikulu Katonda Ali Waggulu Ennyo byankoledde.
3 How great are his signs, and how mighty are his wonders! His kingdom is an everlasting kingdom, and his dominion is from generation to generation. Obubonero bwe nga bukulu, n’eby’amagero bye nga byewuunyisa! Obwakabaka bwe bwa mirembe na mirembe; N’okufuga kwe tekuliggwaawo.
4 I, Nebuchadnezzar, was at ease in my house and flourishing in my palace. Nze Nebukadduneeza, nnali mpumulidde mu maka gange wakati mu bugagga nga mpumuliddeko mu lubiri lwange.
5 I saw a dream that frightened me; thoughts on my bed and visions in my head terrified me. Ne ndoota ekirooto ekyantiisa; bwe nnali nga ngalamidde ku kitanda kyange, ne ndaba ebifaananyi mu kwolesebwa, ebyantiisa.
6 So I ordered all Babylon's wise men brought before me to tell me the dream's meaning. Kyennava ndagira abasajja bonna abagezigezi ab’e Babulooni baleetebwe mu maaso gange bantegeeze amakulu g’ekirooto.
7 Then the magicians, enchanters, Babylonians, and astrologers entered. I told them the dream, but they could not interpret it for me. Abalogo, n’abafumu, n’Abakaludaaya, n’abalaguzi ne bajja, ne mbategeeza ekirooto, naye ne balemwa okuntegeeza amakulu gaakyo.
8 Finally Daniel came before me—named Belteshazzar after my god's name, the holy gods' spirit in him—and I told him the dream. Naye oluvannyuma Danyeri gwe natuuma Berutesazza ng’erinnya lya katonda wange bwe liri, era nga n’omwoyo ogwa bakatonda abatukuvu guli mu ye, n’ajja mu maaso gange ne mutegeeza ekirooto.
9 Belteshazzar, chief magician, I know the spirit of the holy gods is in you, and no mystery baffles you—tell me the visions of my dream that I saw, and their meaning. Ne mugamba nti, “Berutesazza, omukulu w’abafumu, mmanyi ng’omwoyo ogwa bakatonda abatukuvu guli mu ggwe, so tewali kigambo eky’ekyama ekikuzibuwalira. Ntegeeza ekirooto kyange, n’amakulu gaakyo.
10 The visions in my mind while in bed: I saw a tree in the middle of the earth, very tall. Kuno kwe kwolesebwa kwe nafunye nga ngalamidde ku kitanda kyange; nalabye omuti wakati mu nsi, nga muwanvu nnyo nnyini.
11 The tree grew and became strong, and its top reached to heaven, and it was visible to the ends of the whole earth. Omuti ne gukula ne guba gwa maanyi, n’entikko yaagwo n’etuuka ku ggulu era nga gulengerwa okuva ku nkomerero y’ensi zonna.
12 Its leaves were beautiful and its fruit abundant, and in it was food for all. Wild animals found shade under it, and the birds of the heavens lived in its branches, and all flesh was fed from it. Ebikoola byagwo byali birungi okutunulako, n’ebibala byagwo nga bingi, era nga gulina emmere emala bonna. Ensolo enkambwe ez’omu nsiko zaatuulanga mu kisiikirize kyagwo, n’ennyonyi ez’omu bbanga zaatuulanga ku matabi gaagwo, na buli kiramu kyonna kyalisibwanga.
13 In my visions in bed I saw a watcher, a holy one, coming down from heaven. “Awo mu kiseera ekyo nga ngalamidde ku kitanda kyange, mu kwolesebwa, ne ndaba omubaka omutukuvu ng’ava mu ggulu.
14 He shouted: Cut down the tree, chop its branches, strip its leaves, scatter its fruit. Let animals flee from under it, birds from its branches. N’ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, ‘Tema omuti, otemeko n’amatabi gaagwo; okunkumule amalagala gaagwo, osaasaanye n’ebibala byagwo, n’ennyonyi zibuuke zive ku matabi gaagwo.
15 But leave the stump of its roots in the earth, bound with a band of iron and bronze, in the grass of the field. Let him be drenched with the dew of heaven, and let his portion be with the wild animals in the grass of the earth. Naye ekikonge ky’ekikolo kyagwo kireke mu ttaka, nga kiriko ekyuma ekisiba n’ekikomo, mu muddo omuto ku ttale. “ ‘Muleke abisiwale n’omusulo ogw’omu ggulu, era muleke agabanire wamu omuddo, n’ensolo ez’omu nsiko.
16 Let his human mind be taken away and a beast's mind be given to him, and let seven periods of time pass over him. Era n’amagezi ge ag’obuntu gakyusibwe, afuuke ng’ensolo enkambwe ey’omu nsiko okumala emyaka musanvu.
17 The sentence is by the decree of the watchers, the decision by the word of the holy ones, so that the living may know that the Most High rules over the kingdom of men and gives it to whom he will and sets over it the lowliest of men.' “ ‘Omusango ogwo gulangiriddwa ababaka, abatukuvu be baasanguza ekisaliddwawo, abalamu balyoke bategeere ng’Oyo Ali Waggulu Ennyo y’afuga obwakabaka bw’abantu, era abuwa buli gw’asiima, era alonda abantu abasemberayo ddala okuba aba wansi okubafuga.’
18 This is the dream I, King Nebuchadnezzar, saw. Tell me its meaning, Belteshazzar, for my kingdom's wise men can't explain it, but you can—the spirit of the holy gods is in you. “Ekyo kye kirooto, nze Kabaka Nebukadduneeza kye naloose. Kaakano ggwe Berutesazza, ntegeeza amakulu gaakyo kubanga tewali n’omu ku basajja abagezigezi mu bwakabaka bwange ayinza okuntegeeza amakulu gaakyo. Naye ggwe oyinza, kubanga omwoyo ogwa bakatonda abatukuvu guli mu ggwe.”
19 Then Daniel, called Belteshazzar, was stunned briefly, alarmed by his thoughts. The king said, "Belteshazzar, don't let the dream or its meaning alarm you." Belteshazzar answered, "My lord, may the dream be for your haters, its meaning for your enemies!" Awo Danyeri eyayitibwanga Berutesazza n’atawanyizibwa mu mutima okumala akabanga, ne yeeraliikirira. Kabaka n’amugamba nti, “Berutesazza, ekirooto n’amakulu gaakyo bireme okukweraliikiriza.” Berutesazza n’addamu nti, “Mukama wange, ekirooto kibe nga kyogera ku abo abakukyawa, n’amakulu gaakyo gabe nga googera ku balabe bo!
20 The tree you saw grew strong, its top reaching heaven, visible to all the earth, Omuti gwe walaba, ogwakula ne guba gwa maanyi, ogwawanvuwa ne gutuuka ku ggulu, nga gulabibwa ensi yonna,
21 beautiful leaves, abundant fruit, food for all—wild animals lived beneath it, birds of the sky nested in its branches. ogwaliko amalagala amalungi n’ebibala byagwo nga bingi nnyo, era nga guliko n’emmere emala bonna, nga n’ensolo ez’omu nsiko zituula mu kisiikirize kyagwo, nga n’ennyonyi ez’omu bbanga zisiisira ku matabi gaagwo,
22 It is you, king—you have grown and become strong; your greatness has grown, reaching heaven, your dominion to the ends of the earth. ye ggwe, ayi kabaka! Okuze n’oba mukulu era n’oba w’amaanyi; n’obukulu bwo bweyongedde ne butuuka ku ggulu, n’obuyinza bwo butuuse ku nkomerero y’ensi.
23 Because the king saw a watcher, a holy one, come down from heaven, saying: Cut down the tree, destroy it—but leave the stump of its roots in the ground, bound with a band of iron and bronze in the field's grass. Let him be drenched with the dew of heaven; his portion with the wild animals, until seven periods of time pass over him. “Ggwe ayi kabaka walabye omubaka, era omutukuvu ng’akka okuva mu ggulu, n’ayogera nti, ‘Tema omuti oguzikirize, naye ekikonge ky’ekikolo kyagwo kireke mu ttaka ng’okisibye n’ekyuma n’ekikomo mu muddo omuto ogw’oku ttale; era muleke abisiwazibwe omusulo ogw’omu ggulu, n’omugabo gwe gubeere n’ensolo enkambwe ez’omu nsiko, emyaka musanvu.’
24 This is the interpretation, my king: the Most High's decree has come upon my lord the king, “Gano ge makulu, ayi kabaka, era lino lye tteeka Oyo Ali Waggulu Ennyo ly’alangiriridde mukama wange kabaka.
25 you'll be driven from people to live among wild animals, eating grass like oxen, drenched with the dew of heaven, until seven times pass over you and you know the Most High rules the human kingdom, giving it to whoever he chooses. Oligobebwa okuva mu bantu era olibeera n’ensolo ez’omu nsiko; olirya omuddo ng’ente, era olibisiwala okumala emyaka musanvu okutuusa lw’olitegeera ng’Oyo Ali Waggulu Ennyo y’afuga obwakabaka bw’abantu, era abugabira buli gw’asiima.
26 The command to leave the stump and its roots in the ground: your kingdom will be restored to you once you know Heaven rules. Ekiragiro eky’okuleka ekikonge ky’ekikolo ky’omuti, amakulu gaakyo ge gano: obwakabaka bwo bulikuddizibwa bw’olitegeera ng’eggulu lye lifuga.
27 So, king, accept my advice: break from your sins through righteousness, your wrongdoing through mercy to the poor, so your prosperity may continue. Noolwekyo, ayi kabaka nteesa nti; weetoowaze olekeyo ebibi byo okole eby’obutuukirivu, era n’ebikolwa byo ebitali bya butuukirivu obireke obeere wa kisa eri abanyigirizibwa, olyoke ofuuke mugagga okusinga nga bw’oli kaakano.”
28 All this came upon King Nebuchadnezzar. Ebyo byonna byatuukirira ku Kabaka Nebukadduneeza.
29 Twelve months later, he was walking on the roof of Babylon's royal palace. Bwe wayitawo emyezi kkumi n’ebiri, kabaka yali atambulira ku kasolya k’olubiri lwe olwa Babulooni,
30 The king said, "Is this not great Babylon I built as a royal house by my mighty power, for the glory of my majesty?" n’ayogera nti, “Ono si ye Babulooni omukulu gwe nazimba n’amaanyi gange amangi okuba ekibuga ekikulu eky’ekitiibwa eky’obwakabaka bwange?”
31 The words were still in the king's mouth when a voice fell from heaven: "King Nebuchadnezzar, this is said to you: the kingdom has left you. Awo bwe yali ng’akyayogera, eddoboozi ne liva mu ggulu nga ligamba nti, “Kuno kwe kulangirira okukukwatako Kabaka Nebukadduneeza: obwakabaka bwo bukuggyiddwako.
32 You'll be driven from people, living with wild animals, eating grass like an ox. Seven periods will pass over you, until you know the Most High rules mankind's kingdom and gives it to whomever he wills." Oligobebwa mu bantu era olibeera n’ensolo okumala emyaka musanvu okutuusa lw’olitegeera ng’Oyo Ali Waggulu ennyo y’afuga obwakabaka obw’abantu era abuwa buli gw’asiima.”
33 At once the word came true against Nebuchadnezzar: driven from people, he ate grass like cattle, his body soaked by the dew of heaven, until his hair grew like eagle feathers, his nails like bird claws. Amangwago ebyayogerwa ku Nebukadduneeza ne bituukirira. N’agobebwa mu bantu era n’alya omuddo ng’ente. Omubiri gwe ne gutoba omusulo ogw’omu ggulu okutuusa enviiri ze lwe zaakula ng’ebyoya by’empungu n’enjala ze ng’enjala z’ennyonyi.
34 When the days ended, I, Nebuchadnezzar, raised my eyes to heaven, and my reason returned. I blessed the Most High, praised and honored the One who lives forever, whose rule is everlasting, whose kingdom spans every generation. Oluvannyuma lw’ebbanga eryo, nze, Nebukadduneeza, ne nnyimusa amaaso gange eri eggulu, amagezi gange ne gakomawo. Ne ntendereza Oyo Ali Waggulu Ennyo, ne muwa ekitiibwa ne mugulumiza oyo abeera omulamu emirembe n’emirembe. Okufuga kwe tekuliggwaawo, n’obwakabaka bwe bwa mirembe na mirembe.
35 All the inhabitants of the earth are counted as nothing, and he does according to his will among the host of heaven and among the inhabitants of the earth; and no one can hold back his hand or say to him, "What have you done?" Abantu bonna ab’oku nsi abalaba nga si kintu, eggye ery’omu ggulu n’abantu ab’oku nsi abayisa nga bw’asiima. Tewali ayinza okumuziyiza, newaakubadde okumubuuza nti, “Okola ki?”
36 Then my sanity returned; my majesty and splendor returned for my kingdom's glory. My advisers and nobles sought me; I was restored over my kingdom, and surpassing greatness was added to me. Mu kiseera kyekimu okutegeera kwange ne kukomawo, n’ekitiibwa n’obuyinza obw’obwakabaka bwange ne bunzirira. Abawi b’amagezi bange n’abakungu bange ne bannoonya, ne banziriza entebe yange ey’obwakabaka ne nnyongerwako obukulu bungi okusinga ne bwe nalina.
37 Now I, Nebuchadnezzar, praise, exalt, and honor Heaven's King, for all his works are right, his ways just; those walking in pride he can humble. Kale nze Nebukadduneeza kyennaava mmutendereza era ne mmuwa ekitiibwa ne mmugulumiza Kabaka ow’eggulu, kubanga emirimu gye gyonna gya mazima n’amakubo ge ga nsonga, n’abo ab’amalala abakkakkanya.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]