Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Acts 28 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Once we were brought safely through, we learned that the island was called Malta. Awo bwe twamala okutuuka obulungi ku lukalu ne tulyoka tutegeera nti tuli ku kizinga Merita.
2 Local people showed us unusual kindness: they lit a fire and welcomed us all, since rain had started and it was cold. Bannansi b’oku kizinga baatulaga ekisa kingi ekitali kya bulijjo, ne bakuma omuliro ne twota, kubanga obudde bwali bwa butiti nga n’enkuba etandise okutonnya.
3 When Paul gathered a bundle of sticks and put them on the fire, a viper came out from the heat and fastened onto his hand. Pawulo yali akuŋŋaanyizza akaganda k’obuku, naye yali akassa ku muliro, omusota ogw’obutwa ennyo ne guva mu buku obwo ne gweripa ku mukono gwe.
4 Seeing the creature hanging from his hand, the natives said to each other, "This man must be a murderer—though he escaped the sea, Justice won't let him live." Bwe baalaba ekintu ekireebeeta ku mukono gwa Pawulo ne bagambagana nti, “Ddala oyo mutemu. Newaakubadde ng’ennyanja yagiwonye, naye era omusango gukyamulondoola teguumuganye kulama!”
5 But he shook the creature off into the fire and suffered no harm. Naye Pawulo omusota n’agukunkumulira mu muliro n’atabaako kabi konna.
6 They expected him to swell up or suddenly fall dead. But after watching a long time and seeing nothing wrong happen to him, they changed their minds, calling him a god. Abantu ne balindirira balabe bw’atandika okuzimba oba okugwa eri afiirewo, naye bwe baalindiririra ebbanga eddene nga tebamulabako kamogo, ne baddamu okwerowooza, ne bagamba nti, “Oyo katonda!”
7 Near that place were estates belonging to the island's chief official, named Publius, who welcomed us and hosted us kindly for three days. Waaliwo ennimiro okuliraana n’olubalama lw’ennyanja we twali, nga ya Pabuliyo eyali omukulu w’ekizinga ekyo. Awo n’atwaniriza mu maka ge n’atusembeza n’atulabirira okumala ennaku ssatu.
8 Publius's father lay sick with fever and dysentery. Paul went in, prayed, laid hands on him, and healed him. Mu kiseera ekyo kitaawe yali mulwadde omusujja ng’alimu ekiddukano ky’omusaayi. Pawulo n’agenda gy’ali n’amusabira, n’amussaako emikono n’amuwonya!
9 After this, the rest of the sick on the island came and were healed. Ekyo bwe kyabaawo, n’abalwadde abalala bonna ku kizinga abaalina endwadde ne bajja gy’ali ne bawonyezebwa.
10 They paid us many honors, and when we sailed, loaded us with everything we needed. Ne batuwa ebirabo bingi, era ekiseera kyaffe eky’okusaabala ku nnyanja bwe kyatuuka, ne batuleetera ebintu bingi ku kyombo bye twali twetaaga okukozesa mu lugendo lwaffe.
11 After three months we sailed in an Alexandrian ship that had wintered at the island, marked with the Twin Brothers. Oluvannyuma lw’emyezi esatu ne tulyoka tusitula. Twagendera mu kyombo eky’e Alegezanderiya ekiyitibwa Abooluganda Abalongo. Kyali kyewogomye awo ku kizinga okumala obudde bwonna olw’obutiti.
12 We put in at Syracuse and stayed there three days. Ne tusooka okugoba mu Sirakusi, ne tumalawo ennaku ssatu.
13 From there we sailed around and arrived at Rhegium. A day later a south wind rose, and on the second day we reached Puteoli. Bwe twava awo ne twetooloola ne tutuuka e Regio. Oluvannyuma lw’olunaku lumu ne tujjirwa empewo eva obukiikaddyo bwa bugwanjuba, olunaku olwaddirira ne tutuuka e Putiyooli.
14 There we found brothers and sisters and were urged to stay with them seven days; so we came to Rome. Wano twasangawo abooluganda, ne batusaba tubeere nabo ennaku musanvu. Bwe twava awo ne tutuuka e Ruumi.
15 The brothers and sisters there heard about us and came to meet us as far as the Forum of Appius and Three Taverns. Seeing them, Paul thanked our Father and took courage. Abooluganda abaali eyo bwe baawulira ebyatutuukako, ne bajja okutusisinkana mu Katale ka Apiya ne ku Bisulo Ebisatu. Pawulo bwe yabalaba ne yeebaza Katonda era n’aguma omwoyo.
16 When we entered Rome, Paul was allowed to stay by himself, with the soldier who guarded him. Bwe twatuuka mu Ruumi Pawulo n’akkirizibwa okubeera yekka, kyokka ng’abeera n’omuserikale amukuuma.
17 Three days later he gathered the Jewish leaders. When they assembled, he said to them, "Brothers, though I'd done nothing against our people or our ancestors' customs, I was handed over as a prisoner from Jerusalem into Roman hands. Awo nga wayiseewo ennaku ssatu, Pawulo n’ayita abakulembeze b’Abayudaaya. Bwe baakuŋŋaana n’ayogera nabo nti, “Abasajja baganda bange, Abayudaaya bankwatira bwereere mu Yerusaalemi, ne bampaayo mu Baruumi, so nga sirina ky’ensobezza ku bantu, wadde ku mpisa z’abajjajjaffe wadde obulombolombo.
18 After examining me, they wanted to release me, since I had no charge deserving death. Abaruumi ne bampozesa, era ne baagala okunta, kubanga tebaalabawo musango gwe nzizizza gunsaanyiza kufa.
19 When the Jews objected, I was forced to appeal to Caesar—though I had no charge to bring against my nation. Naye Abayudaaya bwe baagaana okukkiriza ensala eyo, ne mpalirizibwa okujulira ewa Kayisaali, newaakubadde nga saaliko kye mpawaabira bantu ba ggwanga lyange.
20 That's why I asked to see and speak with you—I wear this chain because of Israel's hope." Noolwekyo mbayise wano tumanyagane era twogeraganye. Olw’essuubi lya Isirayiri, kyenvudde nsibibwa n’olujegere luno.”
21 They said to him: "We received no letters from Judea about you, nor has any brother who came reported or said anything bad about you. Ne bamuddamu nti, “Tetufunanga ku bbaluwa ziva mu Buyudaaya nga zikwogerako, wadde baganda baffe okubaako bye batutegeeza ku ggwe nga bibi.
22 We'd like to hear what you think, since we know this sect is spoken against everywhere." Kyokka twagala okuwulira ebirowoozo byo ku kibiina ekyo, kubanga tumanyi nti buli wamu teriiyo gw’owulira ng’akyogerako bulungi.”
23 They set a day and came to his lodging in greater numbers. From morning to evening he explained, testifying about the kingdom of our Father and trying to persuade them about Jesus from the Law of Moses and the Prophets. Awo ne bategeka olunaku, era ku olwo abantu ne bajja bangi, mu kifo we yasulanga. N’abannyonnyola ng’ajulira obwakabaka bwa Katonda, n’abategeeza ku Yesu, nga byonna abyesigamya ku mateeka ga Musa ne ku bannabbi. Yatandika ku nkya n’amala akawungeezi.
24 Some were convinced by what he said, but others would not believe. Abamu ne bakkiriza bye yayogera, naye abalala ne batakkiriza.
25 Disagreeing among themselves, they left after Paul added one final word: "The Holy Spirit spoke rightly to your ancestors through Isaiah the prophet, saying, Awo nga balemeddwa okukkiriziganya, Pawulo n’abasiibuza ebigambo bino nti, “Mwoyo Mutukuvu yali mutuufu bwe yayogera eri bajjajjammwe ng’ayita mu nnabbi Isaaya nti,
26 "'Go to this people and say: You will indeed hear but never understand, and you will indeed see but never perceive. “ ‘Genda eri abantu bano obagambe nti, Okuwulira muliwulira, naye temulitegeera n’okulaba muliraba naye temulyetegereza.
27 For this people's heart has grown dull, and their ears are hard of hearing, and they have closed their eyes—otherwise they might see with their eyes, and hear with their ears, and understand with their heart, and turn, and I would heal them.' Kubanga omutima gw’abantu bano gugubye. N’amatu gaabwe gazibikidde, n’amaaso gaabwe gazibiridde. Si kulwa nga balaba n’amaaso gaabwe, ne bawulira n’amatu gaabwe, ne bategeera n’emitima gyabwe, ne bakyuka okudda gye ndi, ne mbawonya.’
28 So know: our Father's salvation was sent to the nations—they will listen." “Noolwekyo mumanye nti obulokozi obuva eri Katonda buweereddwa Abaamawanga era bajja kubuwuliriza.”
29 Not in this edition Pawulo bwe yamala okwogera ebyo, Abayudaaya ne bagenda nga bawakana nnyo bokka na bokka.
30 He stayed two whole years in his own rented place and welcomed all who came to him, Awo Pawulo n’amala emyaka ebiri miramba ng’asula mu nnyumba ye gye yeepangisiza, era n’ayanirizanga buli eyajjanga okumulaba.
31 proclaiming our Father's kingdom and teaching about the Lord Jesus Christ, boldly and unhindered. N’abuuliranga obwakabaka bwa Katonda, era n’ayigirizanga ebigambo bya Mukama waffe Yesu Kristo mu lwatu nga tewali amuziyiza.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]