Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

2 Samuel 24 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Again the anger of our Father burned against Israel, and he incited David against them, saying, "Go, take a census of Israel and Judah." Awo Mukama n’asunguwalira Isirayiri nate, n’aleetera Dawudi okubabala. Dawudi n’alagira nti, “Genda obale Isirayiri ne Yuda.”
2 So the king said to Joab, the commander of the army who was with him, "Go now throughout all the tribes of Israel, from Dan to Beersheba, and count the people, so that I may know the number of the people." Kabaka n’alagira Yowaabu n’abaduumizi ab’eggye nti, “Mugende mu bika byonna ebya Isirayiri okuva e Ddaani okutuuka e Beeruseba mubale abantu, ntegeere omuwendo gwabwe.”
3 But Joab said to the king, "May your Father add to the people one hundred times as many as they are, and may the eyes of my lord the king see it. But why does my lord the king want to do this thing?" Naye Yowaabu n’addamu kabaka nti, “Mukama Katonda wo ayongere ku bantu bo emirundi kikumi n’okusingawo, nga mukama wange kabaka akyali mulamu. Naye kiki ekikukoza ekintu bwe kityo mukama wange kabaka?”
4 But the king's command overruled Joab and the commanders of the army. So Joab and the commanders of the army left the king's presence to count the people of Israel. Naye ekigambo kya kabaka ne kisinga amaanyi ebigambo bya Yowaabu n’abaduumizi b’eggye, era ne bava mu maaso ga kabaka ne batanula okubala abantu ba Isirayiri.
5 They crossed the Jordan and camped near Aroer, south of the city that lies in the middle of the valley, toward Gad and on to Jazer. Oluvannyuma olw’okusomoka Yoludaani, ne basiisira okumpi ne Aloweri ku luuyi olw’obukiikaddyo olw’ekibuga mu kiwonvu, ne bayitira mu Gaadi okutuuka e Yazeri.
6 Then they came to Gilead and to the region of Tahtim-hodshi, and they came to Dan-jaan and around to Sidon, Ne bagenda e Gireyaadi ne mu kitundu kya Tatimukodusi, ne batuuka e Ddaani-Yaani ne beebungulula ne baggukira e Sidoni.
7 and came to the fortress of Tyre and to all the cities of the Hivites and the Canaanites, and they went out to the Negev of Judah at Beersheba. Ne bagenda ku kigo eky’e Ttuulo ne mu bibuga byonna eby’Abakiivi n’eby’Abakanani, ne bakomekkereza omulimu gwabwe e Beeruseba mu bukiikaddyo obwa Yuda.
8 So when they had gone through all the land, they came to Jerusalem at the end of nine months and twenty days. Awo oluvannyuma olw’okuyitaayita mu nsi yonna omulimu nga bagukoledde emyezi mwenda n’ennaku amakumi abiri, ne baddayo e Yerusaalemi.
9 Joab reported the census count to the king: in Israel there were 800,000 valiant men who drew the sword, and Judah had 500,000. Yowaabu n’awaayo omuwendo gw’abantu bonna eri kabaka. Mu Isirayiri mwaweramu abasajja abalwanyi emitwalo kinaana, ne mu Yuda ne muweramu abasajja abalwanyi emitwalo amakumi ataano.
10 But David's heart struck him after he had counted the people. And David said to our Father, "I have sinned greatly in what I have done. Now, my Father, please take away the guilt of your servant, for I have acted very foolishly." Naye Dawudi n’akeŋŋeentererwa emmeeme olw’ekikolwa ekyo eky’okubala abantu. N’agamba Mukama nti, “Nnyonoonye nnyo olw’ekyo kye nkoze. Kaakano, Ayi Mukama Katonda nziggyako omusango guno omuddu wo gw’azizza, kubanga nkoze eky’obusirusiru.”
11 When David rose in the morning, the word of our Father came to the prophet Gad, David's seer: Awo mu kiro ekigambo kya Mukama Katonda ne kijjira nnabbi Gaadi, omulabi wa Dawudi nti,
12 "Go and say to David, 'This is what our Father says: I am holding three things over you. Choose one of them, and I will carry it out against you.'" “Genda otegeeze Dawudi nti, ‘Bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda nti: ku bino ebisatu londawo ekimu kye nnaakukola.’ ”
13 So Gad came to David and told him, asking, "Will three years of famine come upon your land? Or will you flee three months before your enemies while they pursue you? Or will there be three days of plague in your land? Now think it over and decide what answer I should bring back to the one who sent me." Gaadi n’agenda eri Dawudi n’amugamba nti, “Ndireeta enjala mu nsi okumala emyaka musanvu? Oba, ndikuddusa mu maaso g’abalabe bo okumala emyezi esatu, nga bakugoba? Oba, walibaawo ennaku ssatu eza kawumpuli mu nsi yo? Kirowoozeeko, ontegeeze ky’onoosalawo, nzizeeyo obubaka eri oyo antumye.”
14 Then David said to Gad, "I am in deep distress. Let us fall into the hand of our Father, for his compassion is very great; but do not let me fall into the hand of man." Awo Dawudi n’agamba Gaadi nti, “Nsobeddwa nnyo; wakiri tugwe mu mukono gwa Mukama Katonda, kubanga okusaasira kwe kungi; okusinga okugwa mu mikono gy’abantu.”
15 So our Father sent a plague upon Israel from the morning until the appointed time, and 70,000 of the people from Dan to Beersheba died. Awo Mukama Katonda n’aweereza kawumpuli ku Isirayiri okuva ku makya okwo okumala ekiseera Mukama kye yateekateeka, abantu emitwalo musanvu ne bafa okuva mu bitundu ebya Ddaani okutuuka e Beeruseba.
16 But when the angel stretched out his hand toward Jerusalem to destroy it, our Father relented from the disaster and said to the angel who was destroying the people, "Enough! Now stay your hand." The angel of our Father was then by the threshing floor of Araunah the Jebusite. Malayika bwe yagolola omukono gwe eri Yerusaalemi okukizikiriza, Mukama ne yejjusa olw’ekikolwa ekyo, n’agamba malayika eyabonereza abantu nti, “Kinaamala, toyoongera nate.” Olwo malayika wa Mukama Katonda yali atuuse ku gguuliro lya Alawuna Omuyebusi.
17 When David saw the angel who was striking the people, he spoke to our Father and said, "Look, I am the one who has sinned; I am the one who has done wrong. But these sheep, what have they done? Please, let your hand fall on me and on my father's house." Awo Dawudi bwe yalaba malayika wa Mukama Katonda eyabonereza abantu, n’ayogera nti, “Nze nnyonoonye era nze nkoze eby’ekyejo, naye endiga zino, tezirina kye zikoze. Nkwegayiridde, omukono gwo ka gubonereze nze n’ennyumba ya kitange.”
18 That day Gad came to David and said to him, "Go up and raise an altar to our Father on the threshing floor of Araunah the Jebusite." Ku lunaku olwo Gaadi n’agenda eri Dawudi n’amugamba nti, “Yambuka ozimbire Mukama Katonda ekyoto ku gguuliro lya Alawuna Omuyebusi.”
19 So David went up, according to the word of Gad, as our Father had commanded. Awo Dawudi n’agondera ebiragiro bya Mukama Katonda bye yayisa mu Gaadi, n’ayambuka ku gguuliro.
20 When Araunah looked down and saw the king and his servants coming toward him, he went out and bowed before the king with his face to the ground. Alawuna n’alengera kabaka n’abasajja be nga bajja gy’ali, n’afuluma n’avuunama mu maaso ga kabaka, ne yeeyala wansi.
21 And Araunah said, "Why has my lord the king come to his servant?" David replied, "To buy the threshing floor from you, to build an altar to our Father, so that the plague may be held back from the people." Alawuna n’abuuza nti, “Kiki ekireese mukama wange kabaka eri omuddu we?” Dawudi n’addamu nti, “Nzize okugula egguuliro lyo, nzimbire Mukama ekyoto, kawumpuli aleke okubuna mu bantu.”
22 Araunah said to David, "Let my lord the king take and offer up whatever seems good to him. Look, here are the oxen for the burnt offering, and the threshing sledges and the ox yokes for the wood. Alawuna n’agamba Dawudi nti, “Mukama wange kabaka atwale kyonna ky’anaasiima akiweeyo. Ente ziizo ez’ekiweebwayo ekyokebwa, n’ebintu ebiwuula n’ebikoligo by’ente byonna mbiwaddeyo okuba enku.
23 All this, O king, Araunah gives to the king." And Araunah said to the king, "May the LORD your God accept you." Ebyo byonna, Alawuna abiwaddeyo eri kabaka.” Alawuna n’ayongerako nti, “Olabe ekisa mu maaso ga Mukama Katonda wo.”
24 But the king said to Araunah, "No, I insist on buying it from you for a price. I will not offer to my Father burnt offerings that cost me nothing." So David bought the threshing floor and the oxen for about one.Two pounds of silver. Naye kabaka n’agamba Alawuna nti, “Nedda, nzija kulisasulira. Sijja kuwaayo ssaddaaka ez’ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama Katonda wange, nga sisasulidde muwendo.” Awo Dawudi n’asasulira egguuliro n’ente, omuwendo ogw’enkana effeeza, gulaamu lukaaga.
25 And David built an altar there to our Father and offered burnt offerings and peace offerings. So our Father responded to the plea for the land, and the plague was held back from Israel. Dawudi n’azimbira Mukama ekyoto n’awaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe. Olwo Mukama Katonda n’ayanukula okusaba kwe ku lw’ensi, kawumpuli n’ava ku Isirayiri.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]