Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

1 Samuel 7 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 The men of Kiriath-jearim came, took the ark of our Father, brought it to Abinadab's house on the hill, and dedicated his son Eleazar to guard the ark of our Father. Awo abantu b’e Kiriyasuyalimu ne bajja ne baddukira essanduuko ya Mukama, ne bagitwala mu nnyumba ya Abinadaabu ku lusozi. Ne bayawula Eriyazaali mutabani we okuvunaanyizibwa essanduuko ya Mukama.
2 From the day the ark came to rest at Kiriath-jearim, a long time passed—twenty years—and the whole house of Israel mourned and sought after our Father. Essanduuko n’emala mu Kiriyasuyalimu ebbanga ddene, eryawerera ddala emyaka amakumi abiri, era abantu b’ennyumba ya Isirayiri bonna baali banakuwavu era nga banoonya Mukama.
3 Then Samuel spoke to the whole house of Israel: "If you're returning to our Father with all your heart, remove the foreign gods and the Ashtaroth from among you, set your hearts on our Father, and serve him alone—and he will rescue you from the Philistines." Awo Samwiri n’agamba ennyumba ya Isirayiri yonna nti, “Obanga mudda eri Mukama n’omutima gumu, muggyeewo bakatonda abagwira ne Baasutoleesi, mmweweeyo eri Mukama gwe muba muweerezanga yekka, era anaabalokola okuva mu mukono gw’Abafirisuuti.”
4 So Israel's people removed the Baals and Ashtaroth, and served our Father alone. Awo Abayisirayiri ne bava ku Babaali ne Baasutoleesi, ne baweerezanga Mukama yekka.
5 Then Samuel said, "Gather all Israel at Mizpah, and I will pray to our Father for you." Samwiri n’ayogera nti, “Mukuŋŋaanye Isirayiri yenna e Mizupa, mbegayiririre eri Mukama.”
6 They gathered at Mizpah, drew water, poured it before our Father, fasted that day, and confessed, "We have sinned against our Father." Samuel judged Israel at Mizpah. Bwe baali bakuŋŋaanidde e Mizupa, ne basena amazzi, ne bagayirira mu maaso ga Mukama, ne basiiba era ne baatula ebibi byabwe nga boogera nti, “Twonoonye eri Mukama.” Olwo Samwiri nga ye mukulembeze era omulamuzi wa Isirayiri e Mizupa.
7 The Philistines heard that the Israelites had gathered at Mizpah, and the Philistine rulers marched up against Israel. The Israelites heard, and feared the Philistines. Awo Abafirisuuti bwe baawulira nga Abayisirayiri bakuŋŋaanidde e Mizupa, abafuzi b’Abafirisuuti ne babalumba. Abayisirayiri bwe baakiwulira ne batya Abafirisuuti.
8 The Israelites said to Samuel, "Don't stop crying out to our Father for us, so he'll save us from the Philistines." Ne bagamba Samwiri nti, “Tolekeraawo kutukaabiririra eri Mukama Katonda waffe, atulokole okuva mu mukono gw’Abafirisuuti.”
9 Samuel took a nursing lamb and offered it as a whole burnt offering to our Father. Samuel cried out to our Father for Israel, and our Father answered him. Awo Samwiri n’addira omwana gw’endiga oguyonka n’aguwaayo ng’ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama, n’akaabirira Mukama ku lwa Isirayiri, Mukama n’amuddamu.
10 As Samuel offered the burnt offering, the Philistines advanced to attack Israel. But that day our Father thundered with a great voice against the Philistines, threw them into panic, and they were defeated before Israel. Ku lunaku olwo Samwiri bwe yali ng’awaayo ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama, Abafirisuuti ne basembera okulwanyisa Isirayiri, naye Mukama n’abwatuka okubwatuka okw’amaanyi, Abafirisuuti ne batya nnyo, era ne badduka Abayisirayiri.
11 Israel's men left Mizpah, chased the Philistines, and struck them down to below Beth-car. Abasajja Abayisirayiri ne bava e Mizupa ne bagoba Abafirisuuti, ne bagenda nga babatta okutuukira ddala ku Besukali.
12 Then Samuel took a stone, set it up between Mizpah and Shen, and named it Ebenezer, saying, "Up to now our Father has helped us." Awo Samwiri n’addira ejjinja n’aliteeka wakati wa Mizupa ne Seni, ekifo ekyo n’akituuma Ebenezeri, ng’agamba nti, “Mukama atuyambye okutuusa kaakano.”
13 So the Philistines were subdued and did not invade Israel's territory again; our Father's hand opposed the Philistines throughout Samuel's lifetime. Abafirisuuti ne bawangulwa, ne bataddayo nate kulumba Isirayiri. Era ennaku zonna eza Samwiri, omukono gwa Mukama ne gunyigiriza Abafirisuuti.
14 Israel got back the cities Philistines had taken, from Ekron to Gath, recovering its territory from Philistine hands. Israel also had peace with the Amorites. Abayisirayiri ne beddiza ebibuga byonna Abafirisuuti bye baali babawambyeko okuva mu Ekulooni okutuuka e Gaasi, ate era Isirayiri n’anunula ebitundu ebyali biriraanyeewo okuva mu buyinza bw’Abafirisuuti. Ne waba okutabagana wakati wa Isirayiri n’Abamoli.
15 Samuel judged Israel all the days of his life. Samwiri n’alamula era n’afuga Isirayiri ennaku zonna ez’obulamu bwe.
16 He went year by year, circuiting Bethel, Gilgal, and Mizpah, judging Israel at all these places. Buli mwaka n’agendanga e Beseri, n’e Girugaali n’e Mizupa mu mpalo ng’alamula Isirayiri mu bifo ebyo byonna.
17 So he went back to Ramah, his home, and judged Israel there. There he built an altar to our Father. N’oluvannyuma yakomangawo e Laama, amaka ge gye gaabeeranga, nayo n’alamulirayo Isirayiri. N’azimbirayo Mukama ekyoto.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]