Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

1 Chronicles 5 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 The sons of Reuben, Israel's firstborn—he was indeed the firstborn, but since he violated his father's bed, his birthright went to the sons of Joseph son of Israel, so he could not be listed as the firstborn in the genealogy. Batabani ba Lewubeeni, mutabani omukulu owa Isirayiri, ye yali omubereberye, naye nayonoona obufumbo bwa kitaawe, obusika bwe ng’omuggulanda ne buweebwa batabani ba Yusufu mutabani wa Isirayiri, kyeyava tabalirwa mu byafaayo ng’omubereberye.
2 Though Judah grew strong among his brothers and a ruler came from him, the birthright was Joseph's. Yuda yali w’amaanyi okusinga baganda be, era mu ye mwe mwava kabaka ow’eggwanga lya Isirayiri, wabula ebyobusika eby’obuggulanda byali bya mutabani wa Yusufu omukulu.
3 The sons of Reuben the firstborn of Israel: Hanoch, Pallu, Hezron, and Carmi. Batabani ba Lewubeeni, mutabani omukulu owa Isirayiri baali: Kanoki, ne Palu, ne Kezulooni ne Kalumi.
4 The sons of Joel: Shemaiah his son, Gog his son, Shimei his son, Ab’enda ya Yoweeri baali Semaaya mutabani we, ne Gogi muzzukulu we, ne Simeeyi muzzukulu we.
5 Micah his son, Reaiah his son, Baal his son, Mikka yali mutabani wa Simeeyi, ne Leyaya n’aba muzzukulu we, ne Baali n’aba muzzukulu we.
6 and Beerah his son, whom Tiglath-pileser king of Assyria exiled—he led the Reubenites. Mutabani wa Baali yali Beera, omukulu w’ekika ky’Abalewubeeni, Tirugazupiruneseri kabaka w’e Busuuli gwe yatwala mu buwaŋŋanguse.
7 His relatives by their clans, as listed in the genealogical records: Jeiel the chief, Zechariah, Baganda be ng’enda zaabwe bwe zaali be bano: Yeyeri omukulu w’ekika, Zekkaliya,
8 and Bela son of Azaz, son of Shema, son of Joel. They settled in Aroer, to Nebo and Baal-meon. Bera mutabani wa Azozi, muzzukulu wa Sema, muzzukulu wa Yoweeri. Be baasenga mu Aloweri okutuuka e Nebo ne Baalu Myoni.
9 They also settled eastward to the edge of the desert that stretches to the Euphrates, since their livestock had multiplied in Gilead. Ate baasenga n’ebuvanjuba w’eddungu okutuukira ddala ku mugga Fulaati, kubanga amagana gaabwe gaali gaaze nnyo.
10 In Saul's days they fought the Hagrites, who fell to them; they lived in the Hagrites' tents across the whole region east of Gilead. Awo ku mirembe gya Sawulo ne balumba Abakaguli, era Abakaguli ne bagwa mu mikono gyabwe, era bali ne beegazaanyiza mu nsi y’Abakaguli okutuukira ddala ku luuyi olw’ebuvanjuba olw’e Gireyaadi.
11 The sons of Gad lived next to them in the land of Bashan as far as Salcah: Bazzukulu ba Gaadi baabeeranga okuliraana Basani okwolekera Saleka.
12 Joel the chief, Shapham the second-in-command, then Janai and Shaphat in Bashan. Yoweeri ye yali omukulembeze, ne Safamu nga ye mumyuka we, ate ne wabaawo ne Yanayi ne Safati mu Basani.
13 Their relatives, by their fathers' households, were Michael, Meshullam, Sheba, Jorai, Jacan, Zia, and Eber—seven. Baganda baabwe mu nda z’abajjajjaabwe bwe baali Mikayiri, ne Mesullamu, ne Seeba, ne Yolayi, ne Yakani, ne Ziya, ne Eberi, bonna awamu musanvu.
14 These were sons of Abihail son of Huri, son of Jaroah, son of Gilead, son of Michael, son of Jeshishai, son of Jahdo, son of Buz. Bano be baali ab’omu nnyumba ya Abikayiri mutabani wa Kuuli, muzzukulu wa Yalowa, muzzukulu wa Gireyaadi, muzzukulu wa Mikayiri, muzzukulu wa Yesisayi, muzzukulu wa Yakudo, ne muzzukulu wa Buzi.
15 Ahi son of Abdiel, son of Guni, was the head of their fathers' households. Aki mutabani wa Abudyeri, muzzukulu wa Guni, omukulu w’ennyumba yaabwe.
16 They lived in Gilead, in Bashan and its villages, and across all Sharon's pasturelands to their borders. Baabeeranga mu Gireyaadi, mu Basani, ne mu bibuga byayo ebirala ne mu malundiro g’e Saloni okutuuka ku nsalo yaayo.
17 All these were listed in genealogies during the reigns of Jotham king of Judah and Jeroboam king of Israel. Bino byonna byawandiikibwa mu bitabo ebyafaayo mu mirembe gya Yosamu kabaka wa Yuda, ne Yerobowaamu kabaka wa Isirayiri.
18 The Reubenites, Gadites, and half-tribe of Manasseh had capable men bearing shield and sword, drawing the bow, trained for war—44,760 ready for battle. Abalewubeeni, n’Abagaadi, n’ekitundu ky’ekika kya Manase baalina abasajja emitwalo ena mu enkumi nnya mu lusanvu mu nkaaga, ab’amaanyi era nga bazira mu kukwata engabo, ekitala, ne mu kukozesa obusaale, era nga batendeke mu kulwana.
19 They waged war against the Hagrites, and against Jetur, Naphish, and Nodab. Ne balumba Abakaguli, ne Yetuli, ne Nafisi ne Nodabu.
20 They were helped against them; the Hagrites and all their allies were given into their hand, because they cried out to our Father in battle. He answered them, for they trusted in him. Olw’okwesiga n’okusaba Katonda okubabeera, baawangula Abakaguli mu lutalo.
21 They captured the Hagrites' livestock: 50,000 camels, 250,000 sheep, 2,000 donkeys, and 100,000 people. Baanyaga amagana g’ente, n’eŋŋamira emitwalo etaano, n’endiga emitwalo abiri mu etaano n’endogoyi enkumi bbiri ate ne bawamba n’abasajja emitwalo kkumi.
22 Many fell dead, for the battle was our Father's; they lived there until the exile. Era bangi ku bo battibwa kubanga olutalo lwali lwa Katonda. Ne basenga eyo okutuusa lwe baawaŋŋangusibwa.
23 Manasseh's half-tribe lived in the land, growing numerous from Bashan to Baal-hermon, Senir, and Mount Hermon. Abantu ab’ekitundu ky’ekika kya Manase baali bangi nnyo, era baasenga mu nsi eya Basani okutuuka ku Baalukerumooni, ne Seniri, ne ku lusozi Kerumooni.
24 Heads of their fathers' households: Epher, Ishi, Eliel, Azriel, Jeremiah, Hodaviah, and Jahdiel—mighty warriors, famous men, heads of their fathers' households. Bano be baali abakulu b’ennyumba zaabwe: Eferi, ne Isi, ne Eryeri, ne Azulyeri, ne Yeremiya, ne Kodaviya, ne Yakudyeri, abasajja abazira era ab’amaanyi, abettutumu, nga gy’emitwe gy’ennyumba zaabwe.
25 But they were unfaithful to their ancestors' God and prostituted themselves to the gods of the land's peoples, whom our Father had destroyed before them. Naye ne bakola ebibi ebimenya ebiragiro bya Katonda wa bajjajjaabwe, ne bagoberera bakatonda baamawanga ag’omu nsi eyo, Katonda be yazikiririza mu maaso gaabwe.
26 So our Father of Israel stirred up the spirit of Pul king of Assyria—Tiglath-pileser king of Assyria—and he exiled the Reubenites, Gadites, and half-tribe of Manasseh to Halah, Habor, Hara, and the river Gozan, where they remain to this day. Katonda wa Isirayiri kyeyava akubiriza omwoyo gwa Puli kabaka w’e Bwasuli, eyayitibwanga Tirugazupiruneseri, n’alumba Abalewubeeni, n’Abagaadi n’ekitundu ekyali kisigaddewo ku Manase, n’abawamba era n’abatwala mu buwaŋŋanguse e Kala, n’e Kaboli, n’e Kaala ne ku mugga Gozani, gye bali n’okutuusa leero.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]