Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

1 Chronicles 28 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 David assembled at Jerusalem all Israel's officials: officials of the tribes, commanders of the divisions serving the king, commanders of thousands and hundreds, stewards over all the king's and his sons' property and livestock, with the court officials, the mighty men, and all valiant warriors. Dawudi n’akuŋŋaanya abakungu bonna aba Isirayiri e Yerusaalemi ng’omwo mwe muli abakulu b’ebika, n’abakulu b’ebitongole abaaweerezanga kabaka, n’abaduumizi ab’olukumi, n’abaduumizi ab’ekikumi, n’abakungu abaavunaanyizibwanga eby’obugagga n’amagana ebyali ebya kabaka ne batabani be, n’abakungu ab’omu lubiri, n’abasajja ab’amaanyi era n’abasajja bonna abazira.
2 King David rose to his feet and said, "Listen to me, my brothers and my people. I had it in my heart to build a house of rest for the ark of our Father's covenant, the footstool for his feet, and I prepared to build it. Awo kabaka Dawudi n’ayimirira n’ayogera nti, “Mumpulirize baganda bange era abantu bange. Nnali nteseeteese mu mutima gwange okuzimbira essanduuko ey’endagaano ya Mukama n’entebe ey’ebigere bya Katonda, ennyumba, era nga nentegeka eyaayo ewedde okukolebwa.
3 But our Father told me, 'You won't build a house for my name, because you're a man of war who has shed blood.' Naye Katonda n’aŋŋamba nti, ‘Tolinzimbira linnya lyange nnyumba, kubanga oli mutabaazi wa ntalo era wayiwa omusaayi.’
4 Yet our Father of Israel chose me, from my whole father's house, to reign over Israel forever. For our Father chose Judah to lead, and within Judah's house, chose my father's house; and of my father's sons he delighted to make me king over all Israel. “Naye ate Mukama Katonda wa Isirayiri yannonda mu nnyumba ya kitange yonna okuba kabaka wa Isirayiri emirembe gyonna. Yalonda Yuda okuba omukulembeze, ne mu nnyumba ya Yuda n’alondamu ennyumba ya kitange, ne mu batabani ba kitange n’asiima okunfuula kabaka wa Isirayiri yenna.
5 Of all my sons—our Father has given me many—he chose Solomon my son to sit on the throne of our Father's kingdom over Israel. Mu batabani bange bonna, kubanga Mukama ampadde bangi, Sulemaani mutabani wange gw’alonze okutuula ku ntebe ey’obwakabaka bwa Mukama mu Isirayiri.
6 He told me, 'Solomon your son will build my house and my courts, for I chose him as my son, and I will be his father.' Yaŋŋamba nti, ‘Sulemaani mutabani wo y’alizimba ennyumba yange n’empya zange, kubanga mmulonze okuba omwana wange, era nange n’abeeranga kitaawe.
7 I will establish his kingdom forever if he stays firm to keep my commands and judgments, as he does today. Ndinyweza obwakabaka bwe emirembe gyonna, bwatalirekayo okugondera ebiragiro byange n’amateeka gange nga bwe bigobelerwa mu nnaku zino.’
8 "So now, before all Israel, the assembly of our Father, and in his hearing, keep and seek out every command of your Father, so you may possess this good land and leave it to your children after you forever. “Kaakano nkukuutira mu lujjudde lwonna olwa Isirayiri, ekuŋŋaaniro lya Mukama, ne Katonda waffe ng’awulira, nti weekuume okugondera ebiragiro ebya Mukama Katonda wo, olyoke olye ensi eno ennungi era (n’abazzukulu) n’abaana ab’obusika bwo bagisikirenga emirembe gyonna.
9 You, Solomon my son, know the God of your father, and serve him with a whole heart and willing mind—our Father searches every heart, understands every plan and thought. Seek him and you'll find him; abandon him and he'll reject you forever. “Era Sulemaani mutabani wange tegeera Katonda wa kitaawo, omuweerezenga n’omutima gumu n’emmeeme yo yonna, kubanga Mukama akebera emitima, era ategeera okufumiitiriza okw’ebirowoozo. Bw’onoomunoonyanga, onoomulabanga, naye bw’onoomulekanga, anaakuvangako emirembe gyonna.
10 Take note, since our Father chose you to build a house for the sanctuary. Be strong, act." Kaakano weekuume, kubanga Mukama akulonze okuzimba ennyumba ey’okusinzizangamu. Ba n’amaanyi, okole omulimu.”
11 David gave Solomon his son the plan of the portico of the temple, its buildings, its storerooms, its upper rooms, its inner rooms, and the room of the mercy seat, Awo Dawudi n’akwasa Sulemaani mutabani we ekyokulabirako eky’ekisasi kya yeekaalu, n’ebizimbe byabyo, n’amawanika gaayo, n’ebisenge ebya waggulu, n’ebisenge eby’omunda, n’ekifo eky’entebe ey’okusaasira.
12 and the plan of all he had in mind for the courts of our Father's house, for all the surrounding rooms, for the storerooms of his house, and for the storerooms of the dedicated gifts; Yamuwa n’enteekateeka ya buli kintu nga eky’empya za yeekaalu ya Mukama, n’ebisenge, ebyali bigiriranye, n’amawanika ga yeekaalu ya Mukama, n’ebintu byonna ebyawongebwa, ng’Omwoyo bwe yali agitadde ku mutima gwe.
13 for the divisions of the priests and Levites, for all the work of service in our Father's house, and all the vessels for service in his house. Yamuwa n’ebiragiro eby’okugobereranga ku bibinja bya bakabona, n’Abaleevi, n’olw’omulimu gwonna ogw’okuweerezanga mu yeekaalu ya Mukama, n’olw’ebintu byonna ebyakozesebwanga mu kuweereza mu nnyumba ya Mukama.
14 He gave gold by weight for each gold article for every kind of service, and silver by weight for each silver article for every kind of service. Yawaayo ebipimo ebya zaabu olw’ebintu byonna ebya zaabu ebyasabwanga buli mulundi, n’ebipimo ebya ffeeza olw’ebintu byonna ebya ffeeza ebyakozesebwanga buli mulundi;
15 The weight for the gold lampstands and their gold lamps, the weight of gold for each gold lampstand and its lamps, and the weight of silver for each silver lampstand and its lamps, according to each lampstand's use. n’ebipimo eby’ettabaaza eza zaabu, n’ettabaaza zaakwo, n’ebipimo ebya zaabu ebya buli kikondo n’ettabaaza yaakyo, n’ebipimo ebya buli kikondo ekya ffeeza n’ettabaaza yaakyo;
16 Gold's weight for each table of the bread of the Presence; and silver for the silver tables. n’ebipimo ebya zaabu eby’emmeeza ez’emigaati emitukuze egy’okulaga, n’ebipimo ebya ffeeza eby’emmeeza eza ffeeza;
17 The forks, basins, and pitchers of pure gold; the weight for each gold dish; the weight for each silver dish; n’ebipimo ebya zaabu ennongoose eya wuuma, n’ebbakuli ezimasamasa, n’ekikopo, n’ebipimo ebya zaabu eby’ebbakuli eza zaabu, n’ebipimo ebya ffeeza eby’ebbakuli eza ffeeza;
18 refined gold by weight for the incense altar; gold for the design of the chariot—the cherubim spreading their wings and covering the ark of the covenant of our Father. n’ebipimo ebya zaabu ennongoose ey’ekyoto eky’obubaane. N’amuwa n’enteekateeka ey’eggaali, be bakerubi aba zaabu abanjala ebiwaawaatiro byabwe ne babikka ku ssanduuko ey’endagaano ya Mukama.
19 "All this," David said, "I have in writing from our Father's hand, who gave me understanding of all the plan's details." Awo Dawudi n’ayogera nti, “Ebyo byonna biri mu buwandiike, kubanga omukono gwa Mukama gwali wamu nange, era yampa okukitegeerera ddala.”
20 David told his son Solomon, "Be strong and courageous; do the work. Don't fear or be discouraged, for my Father is with you. He won't fail or abandon you until all the work for the service of the house of our Father is finished. Dawudi n’ayongera n’agamba Sulemaani mutabani we nti, “Ba n’amaanyi era guma omwoyo, okole omulimu. Totya so totekemuka wadde okuggwamu omwoyo, kubanga Mukama Katonda, Katonda wange ali wamu naawe. Taakwabulirenga so taakulekenga okutuusa omulimu gwonna ogw’okuweereza ogwa yeekaalu ye Mukama nga guwedde.
21 Look—the priests and Levites are divided, ready for all the service of our Father's house. Every skilled, willing man will join you in any task, with the officials and all the people, fully at your command." Era, laba, ebibiina bya bakabona n’Abaleevi beeteefuteefu okukola omulimu ku yeekaalu ya Katonda, na buli musajja omumanyirivu mu kuweesa okw’engeri zonna anaakuyamba mu mulimu gwonna. Era n’abakungu wamu n’abantu bonna banaagonderanga buli kiragiro kyo.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]